Amawulire

Bbaasi esaabadde abantu 4 ababadde batambulira ku bodaboda ne bafiirawo

ABANTU bana ababadde batambulira ku boda boda bafiiriddewo, bbaasi egambibwa okuba eya kkampuni ya Greeline Company Ltd e Kenya bw’ebatomeredde e Namisindwa.

Bbaasi esaabadde abantu 4 ababadde batambulira ku bodaboda ne bafiirawo
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABANTU bana ababadde batambulira ku boda boda bafiiriddewo, bbaasi egambibwa okuba eya kkampuni ya Greeline Company Ltd e Kenya bw’ebatomeredde e Namisindwa.

Akabenje kano, kagudde ku kyalo Bufumbula ku luguudo oluva e Mbale okudda e Lwakhakha mu disitulikiti y’e Namisindwa.

Kigambibwa nti bbaasi nnamba KDB 124E Scania okuva e Kenya,  etomedde pikipiki nnamba UGC 342R era abagibaddako bonna abana ne bafa.

Abafudde, kuliko Derrick Masika 33, nga y’abadde avuga pikipiki, Suzan Watsemwa 46, Beatrice Nabalayo 24, n’omulala munnakenya, atannategeerekeka bimukwatako.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Mbale Rogers Taitika, agambye nti , okubuuliriza kugenda mu maaso.

Tags:
Bbaasi
Kutomera
Bodaboda