Amawulire

OmuChina eyasangiddwa n'Olugave mu bukyamu asimbiddwa mu kkooti

MUNNANSI wa China awerennemba na gwakusangiba n’ebitundu by’olugave mu bukyamu.

OmuChina eyasangiddwa n'Olugave mu bukyamu asimbiddwa mu kkooti
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

MUNNANSI wa China awerennemba na gwakusangiba n’ebitundu by’olugave mu bukyamu.

Pan Yi 41, aweereza mu ssemaduuka era kitunzi abeera e Ntinda mu munisipaali y’e Nakawa y’avunaanibwa okubeera n’ebintu by’olugave nga talina lukusa.

 

 Pan Yi yasangibwa n’amaliba g’olugave agaweza kkiro 1.6, ebigalagamba by’olugave ssaako eddiba ly’omukira gw’olugave ebiweza kkiro 9.61.

Yabadde maaso g’omulamuzi Gladys Kamasanyu owa kkooti y’ebisolo, amasannyalaze ,obutonde bw'ensi n'amazzi e Makindye.

Kyokka kkooti yakaluubiriddwa okumusomera emisango kubanga avvuunula mu lulimi lw’ategeera olw’e China teyabaddewo.

Yasindikiddwa mu kkomera okutuusa ku Lwokusatu nga December 11, 2024 lw’anazzibwa mu kkooti nga bafunye omutaputa.

Tags:
Mawulire
Lugave
Kkooti
Bukyamu
Muchina