SSAABALAMUZI wa Uganda, Owinyi Dollo akangulidde bannabyabufuzi eddoboozi nti bakomye okubasiimuulizaako ebitoomi nga balowooza nti tewali kye bayinza kubakolako n'abasaba omuze guno okugukomya!
Dollo yabadde omugenyi omukulu ku St Stephen Church P/S e Kisugu nga basiibula, omu ku basomesa baabwe Florence Ajoko Dollo, yagambye nti bannabyabufuzi abamu babafuula ba kusiimulizaako bitoomi.
"Bannabyabufuzi abamu balinga omwana alengera muzadde we ng’ayambadde bulungi agenda ku lugendo ye n'ajja n’ebisooto n’amukwatirira yenna ng'engoye alina kuzikyusa. Omuzadde bw'ataba wa kisa na kumanya nti omwana by'akola tabitegeera, ayinza okumukuba," Dollo bwe yagambye.
Yagasseeko nti munnabyabufuzi yenna obutamanya ngeri kitongole kiramuzi gye kikolamu mirimu si musango gwe kuba buvunaanyizibwa bwe (munnabyabufuzi) okuzuula ky'alina okukola ng'afunye obuzibu obwetaaga ekitongole ekyo sso si kubasiimulizaako bitoomi bo ne beetambulira!
"Uganda nsi egenze ekula mu buli kimu, tuyige okuwang'ana ekitiibwa kuba zino ofiisi si zaffe nga abantu wabula za ggwanga nga naawe enkya osobola okugibeeramu. Bannabyabufuzi bayige nti obutamanya tebukuggyisaako musango, kino kitegeeza nti basaanye banoonye okumanya era bategeere amateeka," bwe yagasseeko.
Ye omumyuka wa Bishop atwala Kampala, Jackson Fredrick Baalwa nga yaliko ssentebe w'olukiiko olufuzi olw'essomero lino, yagambye nti buli kitongole kirina okussa mu kinnaakyo ekitiibwa kuba ffenna tuli baana ba Katonda.
Yasiimye eyamuddira mu bigere Rev. Henry Isabirye akoze omulimu ogw'ettendo okulaba nga Kisugu Church of Uganda P/S ekulaakulana ku sipiidi.
"Nneebaza mukyala Ajok Dollo olw'okwetoowaza mu basomesa banne ebbanga ery'emyaka 10 ly’amaze wano, kibadde kizibu okumanya nti mukyala wa Ssaabalamuzi, Katonda yakuwa ekitone ekyo era n'abaana bo Katonda abayambe bakitwale kuba abantu abasinga okwemanya kubali mu musaayi,” Isabirye bwe yagambye n’agattako nti, “Nneebaza Isabirye okussa ettoffaali eddene ku ssomero lino" Baalwa bwe yagasseeko.