Rev Mereewooma egy'obuweereza mu busumba bw'e Kitegomba agitandikidde mu ggiya
Dec 18, 2024
OMUSUMBA w'obusumba bw'e Kitegomba Abel Merewooma ng'ayita mu mikwano gye n'Abakulisitaayo, asitudde ennyumba y'omusumba galikwoleka oluvannyuma lw'okusangawo enkadde ng'ekutte mu mbinabina nga tekyasaanira kusulamu muweereza wa Mukama.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUSUMBA w'obusumba bw'e Kitegomba Abel Merewooma ng'ayita mu mikwano gye n'Abakulisitaayo, asitudde ennyumba y'omusumba galikwoleka oluvannyuma lw'okusangawo enkadde ng'ekutte mu mbinabina nga tekyasaanira kusulamu muweereza wa Mukama.
Omusumba ono eyaletebwa mu busumba buno mu mwezi gw'omunaana omwaka guno, ng'adda mu bigere by'omusumba Henry Maguzi, yasanga ennyumba eri mu mbeera mbi n'agamba Abakrisitaayo nti efaananako bw'etyo tesaanira kusuzibwamu muweereza wa Mukama n'akola bulungi emirimu gya Mukama.
"Ensula y'omuwereza kikulu nnyo mu kulyowa emyoyo gy'abantu, bw'abeera asula bubi n'enjiri ejja kuba yaakibogwe anti agibuulira alowooza gy'asula, emmeeme ye tesobola kutebenkerera ku ky'abuulira. Nze nnasalawo nzire mu bupangisa nga bwenzimba empya ey'obusumba," bw'atyo Rev. Merewooma bwe yategeezezza.

Ennyumba Omusumba W'obusumba Bw'e Kitegomba,mw'agenda Okusula Eri Mu Kuzimbibwa Rev.mereewooma(moses Nyanzi).
Agamba nti okuyita mu mikwano gye wamu n'Abakulisitaayo ayagala okumalako December, ng'omutendera ogusooka wansi guwedde awo ayingire nga bw'azimba, era nga yasinzidde wano n'alaga pulaani y'ennyumba bw'enefaanana.
Omu kubakulisitaayo Tom Bakyayita yatendereza Merewooma n'agamba nga bw'azzizzaamu Abakulisitaayo essuubi okwagala Katonda, okuwaayo n'okukola emirimu gy'ekkanisa.
Mu kiseera kino bali mu kuzimbira n'omubuulizi ennyumba yaddenga okuzimba kukyayimiridde okw'ennyumba y'omusumba.
Related Articles
No Comment