Omusajja akalubye ng’agamba nti omukazi ono okunoba yabuuka n’omusiguze n’akudaalira taata w’abaana nga bwe yafunye omusajja omupya amutegeera.
Atayo Sarah yagambye nti ye yali agenze kuwummulamu oluvannyuma lw’amaka gaabwe okuyingira obutabanguko ng’omusajja ayitirizza ettamiiro wabula yali tagenze butadda kubanga n’engoye ze n’ebintu ebirala yabireka.

Atayo Ne Bba Kenyi Mu Ofiisi Ya Kafeero.1212.
“Omukazi oyo nga tannasimbula kugenda yankuba eccupa mu kyenyi era yaleka ntonnya musaayi olw’okuba nali munenyezza okubaliga ng’ali mu maka gange,” Kenyi bwe yategeezezza.
Yayongeddeko nti tajja kugoba mukazi gwe yawasa era mukyala mukulu bw’aba asobola agende amwegobere.
Atayo yagambye nti tajja kukkiriza omukazi omulala kwegazaanyiza mu byobugagga bye yateganira kubanga omusajja yamusanga talina bintu ne bakola ne baweza ennyumba bbiri n’edduuka.
Baabadde mu ofiisi ya Collins Kafeero ekola ku maka, eddembe ly’obuntu n’abaana Atayo gye yaddukidde ng’agamba ayagala bamuzze mu maka akuze omwana omu gwe yaleka azadde.
Kafeero anenyezza Atayo okuleka amaka okumala emyaka wabula n’asaba Kenyi addiremu mukazi we kubanga etteeka limukkiriza okuwasa b’ayagala kasita buli omu amufunira w’amuteeka n’atabagatta mu nju emu.
Baakuddamu okusisinkana oluvannyuma lwa wiiki buli omu ng’amaze okwerowooza.