ABATUUZE b’e Mutungo awagenda okuyisibwa oluguudo lwa Kampala-Jinja Express way basattira oluvannyuma lw’okuggyibwawo kw’ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA ate nga kibadde tekinnabasasula oluvannyuma lw’okubalirirwa.
Okuggyibwawo kw’ekitongole kya UNRA kwaddiridde ennongoosereza ezaakoleddwa mu palamenti ekitongole kino mwe baakiddizza mu minisitule y’Ebyemirimu n’ebyentambula.

Ssentebe Ssengendo Ng'alaga Agamu Ku Mayumba Agagenda Okukosebwa Mu Nteekateeka Y'okukola Oluguudo Kyokka Nga Bannyinigo Tebannasasulwa.
Abatuuze nga bakulembeddwa ssentebe wa Mutungo zzooni 3, Stanley Ssengendo n’abalala balaze okutya nga bagamba nti mu nteekateeka y’okuzimba oluguudo luno waliwo abatuuze abalina okusengulwa.
Bano baabalirirwa emyaka egisoba mu 10 egiyise kyokka nga babadde tebannaba kusasulwa ne bawulira nti ate ekitongole kyaggyiddwawo.
Ssengendo ategeezezza nti ekisinga okubaluma kwe kuba nga oluvannyuma lw’okubabalirira, ab’ekitongole kya UNRA baabagaana okuddamu okukulaakulanya ekitundu kyabwe nga kati n’agamu ku mayumba g’abatuuze gatandise okugwa ekiteeka obulamu bwabwe mu matigga.

Mmeeya Mugambe Ng'ayogera.
Robert Mutesaasira omutuuze mu Mutungo zooni 4, nga y’omu ku baakosebwa entekateeka eno ategeezezza nti abantu tebannaba kusasulwa nga n’ebitundu ebibariraanye byeyongedde okukulaakulana kyokka nga bo tebamanyi kiddako.
Asabye Gavumenti eveeyo ebalambike ku ki kye balina okuzzaako kubanga kati n’ekitongole ekyali kyababalirira ate kyaggyiddwawo ne kiteekebwa mu kirala.
Mmeeya w’e Nakawa Paul Mugambe ategeezezza nti abatuuze mu bitundu ewagenda okuyita oluguudo lwa Kampala-Jinja Express bagumiikirizza nnyo UNRA okumala emyaka mingi nga tebasasula n’asaba Minisitule y’ebyentambula nga bwe yeddizza obuvunaanyizibwa bwa UNRA baveeyo bategeeze abatuuze ekigenda mu maaso.
Allan Ssempebwa nga y’abadde omwogezi wa UNRA nga mu kiseera kino y’omu ku bavunaanyizibwa ku by’amawulire mu minisitule y’ebyentambula agumizza abatuuze abaali baabalibwa nti ebiwandiko byabwe byonna minisitule y’ebyentambula y’ebirina nti era baakuliyirirwa obudde bwonna.