EKIBINJA ky’ababbi ababadde batambulira ku zi boodabooda nga babagalidde amajambiya abasobye mu 10, basazeeko ebibanda bya zzaala 2 e Nateete ne banyaga, poliisi n’ettako omu.
Eggaali y’ababbi eno erumbye mu ssaawa mukaaga ez’emisana ku mmande, olutuuse basimbye pikipiki zaabwe , ne basooka balumba ettabi lya zzaala wa Fortbet erisangibwa ku kizimbe okuli Finance Trust Bank ne banyagawo 950,000/, basazeeko buli abadde mu kibanda munda, ne babeebasa wansi nga babataddeko amajambiya, ne babakanda okuleeta ssente.
Abakozi b'ekibanda kya zzaala nga bannyonnyola poliisi
Mu kutya okungi , abakozi bawaddeyo 950,000/ zebaabadde nazo, ababbi beegabanyizzaamu, abamu nebambuka waggulu ku kizimbe kya Nateete Business Center awali ettabi lya Fortebet eddene.
Olutuuseeyo nayo basazeeko abakozi ababaddemu nebatandika okubakanda okuggulawo kawunta bayingire nebagaana, batandise okukuba endabirwamu nga baagala okuzaasa bayitewo bayingire munda.
Omu ku bakozi Mary Achen asitamye wansi naakubira maneja waabwe essimu okumutegeeza embeera , era ono mu bwangu akubidde DPC w’e Nateete Robert Kachum essimu, naye naasitukiramu ng’ali wamu n’akulira ebikwekweto ku Nateete poliisi divison ASP Samuel Kalyango nebatuuka ku kifo.
Basanze ng’ababbi basazeeko ekifo kyonna, nga bali mu kulwanagana n’abakozi, ASP Kalyango asazeewo okukuba essasi mu bbanga okubataayiza.
Ababbi oluwulidde amasasi nebasimbako kakokola tondeka nyuma nebasasaana, omu abadde alwanagana ne asikaali, n’adduka kiwalazima okusala ekkubo okweyongerayo, ASP Kalyango kwekumugoba, n’amukuba essasi mu lubuto, bamuyodde nebamuteeka ku kabangali ya poliisi atwalibwe mu ddwaaliro e Mulago ajjanjabibwe asobole okwogera banne, ebyembi naakutukira mu kkubo ng’atwalibwa n’afa.
owa Poliisi ng'akuba essimu oluvannyuma lw'okutta omubbi
Ono ategeerekese nga ye Bernard Nadumba ow'emyaka 25 okusinziira ku ndagamuntu ye gyasangiddwa nayo.
RPC wa Kampala South Rogers Sseguya , alagidde abakola ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango (CIDs) okubaako byebazuuza abakozi ba Zzaala n’okwekenneenya kkamera z’ebifo byombi, baasobole okuzuula ababbi abalala ababadde mu bunyazi buno abadduse, ne pikipiki zaabwe kwebabadde batambulira.
Michael Odongo, asikaali wa Fortebet agambye nti, abadde ku ludda olulala agenze okulaba ng’abavubuka basazeeko ekifo, kwekujja okulaba embeera, wabula omu ku bavubuka attiddwa abadde ng’alwana okumenya endabirwamu ayingire awaterekebwa ssente, kwekumwenganga amulagire afulume wabweru neyeerema.
Balwanaganye naamusembeza ku luggi amufulumye neyeerema, amaze kuwulira masasi nga gavuga naayagala adduke n’ejjambiya ye, ng’eno poliisi gyemukubidde amasasi.
Abakozi ba Fortbet beebazizza poliisi okusitukiramu mu bwangu okutaasa ssente endala ennyingi ezisoba mu bukadde 30 ababbi zebaabadde balumbye okunyaga.