POLIISI e Katabi ekyabuuliriza ku ttemu mwe battidde Elvis Sewakiryanga mu zzooni ya Mawugulu e Ntebe.
Omugenzi asangiddwa n'ebiwundu ebiwerako nga balumiriza muganda we Ssennyange n'abantu abalala, okumutulugunya ne bamutta nga bamulumiriza okubba.
Poliisi era ekyabuuliriza ku kuttibwa kwa David Sempebwa mu zzooni ya St Ann e Kabowa .