Amawulire

Poliisi ekyabuuliriza ku ttemu eryakoleddwa ku muvubuka e Mawugulu e Ntebe

POLIISI  e Katabi ekyabuuliriza ku ttemu mwe battidde Elvis Sewakiryanga mu zzooni ya Mawugulu e Ntebe.

Poliisi ekyabuuliriza ku ttemu eryakoleddwa ku muvubuka e Mawugulu e Ntebe
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI  e Katabi ekyabuuliriza ku ttemu mwe battidde Elvis Sewakiryanga mu zzooni ya Mawugulu e Ntebe.

Omugenzi asangiddwa n'ebiwundu ebiwerako nga balumiriza muganda we Ssennyange n'abantu abalala, okumutulugunya ne bamutta nga bamulumiriza okubba.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onnyago agambye nti, bayigga abali emabega w'ekikolwa kino.

Poliisi era ekyabuuliriza ku kuttibwa kwa David Sempebwa mu zzooni ya St Ann e Kabowa .

Tags:
Amawulire
Poliisi
Kubuuliriza
Muvubuka