ABAVUBUKA basatu abagambibwa okumenya ennyumba y’omutuuze ne babba essefuliya basimbiddwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo ne bavunaanibwa ogw’obubbi oluvannyuma ne basindikibwa ku limanda e Luzira.
Umar Ssejoga 35, Fred Mayanja 20, akola mu bbaala ne Godwin Mumbere 24 nga batuuze b’e Wakaliga Zooni A mu Lubaga, be bagasimbaganye n’omulamuzi Amon Mugezi abasomedde emisango ebiri okubadde ogw’okumenya enju n’ekigendererwa ky’okuzza omusango wamu n’okubba n’abasindika mu kkomera.
Kigambibwa nti wakati wa December 24 ne 28, 2024 e Wakaliga Zooni A, n’ekigendererwa eky’okuzza omusango omunene, baamenya ne bayingira mu nju y’omutuuze Harbert Kyomukama.
Bano era ku olwo babbamu omufaliso 6x5, bulanketi 6x5, olugoye olubikka ku mufaliso, amaseffuliya amanene asatu (3), amasuuka ppeya mukaaga, akuuma akakamula jjuyisi, ensawo munaana ezijjudde engoye, essufuliya entonotono 10, kkapeti emu, ne wuufa nga byonna awamu bibalirwamu emitwalo 645,5000.
Oluvannyuma lw’obubbi buno, baayiggibwa era nga bakwatiddwa, baatwalibwa ku Poliisi e Nateete gye baggulibwako emisango gino ku ffayiro CRB; 005/2025 ne baleetebwa mu kkooti.
Mu kkooti, emisango gyonna baagyegaanyi kyokka ku bano Mumbeere ne Mayanja omulamuzi Mugezi yabanokoddeyo nga bwe bataggwa kubeera mu maaso ge era yabayise bakaasitoma be olw’emisango gye bazza entakera.
Olw’okuba tebaabadde na babeeyimirira, yabasindise ku limanda e Luzira okutuusa nga January 21, 2025 lwe banaakomawo guddemu