Abavandimwe bafunye omukisa ogufuna endagamuntu ne pasipooti

ABANNARWANDA abawangaalira mu Uganda abamanyiddwa ng’Abavandimwe bafunye akamwenyumwenyu ku matama oluvannyuma lw’omulanga gwabwe ogw’okundaalirizibwa okuweebwa Paasipooti n’endaga muntu okuddibwamu kati beesunze kutambula.

Frank Gashumba ng'ayogera
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision

ABANNARWANDA abawangaalira mu Uganda abamanyiddwa ng’Abavandimwe bafunye akamwenyumwenyu ku matama oluvannyuma lw’omulanga gwabwe ogw’okundaalirizibwa okuweebwa Paasipooti n’endaga muntu okuddibwamu kati beesunze kutambula.

Nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Frank Gashumba, baatuuzizza olukiiko ku wooteeri ya Speak mu Kampala okubategeeza nti okusaba kwabwe kwatuusiddwa ewa Pulezidenti ne Palamenti nga baakusangulwa amaziga ge babadde bakaaba.

Gashumba yagambye nti babadde bayisibwa bubi nga basosolwa, wamu n’okutyoboola obutuuze bwabwe mu ggwanga naddala ebitongole nga NIRA n’ekivunaanyizibwa ku by’entambula ezisala ensalo.

Abavandimwe nga bali mu lukiiko

Abavandimwe nga bali mu lukiiko

Mu kw’ogerako n’abavandimwe banne, yabategeezezza nti newankubadde bino bibadde bikolebwa, naye ensonga zaabwe zaatuuse mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu, Kaliisoliiso wa Gavumenti, Minisitule y’ensonga z’omunda, ew’akubiriza okukiiko lw’eggwanga wamu n’omukulembeze w’eggwanga era baasubiziddwa nti ensonga zino zaakunogerwa eddagala ery’olubeerera.

Yabategeezezza nti Katikkiro Nabbanja yabasinyizzaako ng’ensonga zaabwe Pulezidenti bwe yazanjudde mu lukiiko olufuzi era enteeteeka ziri mu ggiya ez’okuteeka omukono ku kiragiro ky’omukulembeze basangulwe amaziga.

Gashumba agamba nti kiteekeddwa okumanyibwa nti Abanyarwanda bannansangwa tebeetaaga kuyisibwa mu ngeri ya njawulo yonna wabula okutwalibwa ng’eggwanga eddala lyonna mu Uganda kuba mu ssemateeka mwebali.

Yategeezezza nti newankubadde tebafunye kusosolebwa mu bitundu gye bawangaalira, obuzibuzi basinze ku bufuna nga basaba endaga muntu ne Paasipooti mu bitongole bya NIRA ne n’ekikola ku nsongo z’omunda.

Yasabye Abavandimwe okukolaganira awamu okwewala enjawukana ssaako n’okussaamu obwakabaka ekitiibwa.

Abavandimwe abaakutte akazindaalo batottodde nti okufuna Paasipooti osimba n’akaggo anti batuuka n’okubatuma abazadde newankubadde balina ebiwandiiko byonna.

Gashumba yagambye nti abamu ku basinga okummibwa Paasipooti beebo abaana abaagala okugenda ku byeyo n’abo abaagala okugenda ebweru okusoma.

Amyuka Cansala wa Victoria Yunivaasite, Prof. Lawrence Muganga yategeezezza nti omuntu akkirizibwa okubeera munnayuganda yooyo eyaliwo mu kiro kya nga October 8, 1962 era Ssemateeka wa 1995 n’ayongera okukikkaatiriza.

Yagambye nti bagezezzaako okutuukirira abakulembeze ku mitendera gyonna nga tebaddibwamu wabula naye n’abagumya nti ku mulundi guno lwe baatuukiridde Pulezindenti yabasuubizza okuyisa ekiragiro ekisembeyo ensonga zaabwe okuddibwamu.

Muganga yasabye Abavandimwe okusomesa abaana kyokka n’abasaba okwewala okubasomeseza mu bisulo wabula okubeeranga nabo awaka okumanya empisa zaabwe singa baakugunjula omwana ajjudde.