ABABBI abagambibwa okuba abeebijambiya nga batambulira ku pikipiki ssatu, bafumbiikirizza omusuubuzi ne bamunyagako obukadde 100, z'abadde yaakaggya mu bbanka.
Bibadde Maganjo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Bombo, ababbi ababadde batambulira ku pikipiki ssatu , bwe bafumbikirizza Fred Bamanya , ne bamunyagako obukadde 100.
Kigambibwa nti ssente abadde yaakaziggya mu bbanka e Kawempe ng'ayolekera Kawanda, ne bamutaayizza mu mmotoka Harrier gy'abaddemu nnamba UBN 789 W ,ne bajaasa endabirwamu ne baggyamu ekisawo omubadde ssente ne babulawo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti mu nsawo eyo era mubaddemu ebiwandiiko ebirala , nti ababbi bwe bamaze okuggyamu ssente , ne bagisuula okumpi n'eddwaaliro lya Kyadondo ne babulawo nga kati babayigga.