Ababiikira be Bwanda bakubye ebirayiro
Jan 15, 2025

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
Abasiisita b’ekibiina kya Bannabiikira (Daughters of Mary) abamanyiddwa ennyo nga Ababiikira b’e Bwanda, abawera 20 bakubye ebiragaano eby’olubeera, ne beeyama okusigala nga Bannaddiini ab’ekibiina kino obulamu bwabwe bwonna.
Omukolo gw’abadde mu Nnyumba Nakazadde eya Bannabiikira e Bwanda, mu disitulikiti y’e Kalungu, ku Lwokusatu nga Janwari 8, 2025.
Ababiikira abaakubye ebiragaano eby'olubeerera
Missa ey’ekitibwa y’akulembeddwa Omwepiskoopi w’e Masaka, Serverus Jjumba, ng’ali wamu n’Omwepiskoopi w’e Kasana-Luweero, Lawrence Mukasa, n’Omwepiskoopi w’e Hoima, Vincent Kirabo, n’Abasaserdooti abaasusse mu 200.
Bweyabadde ayigiriza mu mmisa, Munsennyere Serverus Jjumba y’ategeezezza nti ekya Bannaddiini b’ekibiina kino 20 okwewaayo nebakuba ebiragaano eby’olubeerera, mumulembe guno ogujjudde amasanyu, n’okululunkanira obuyinza n’ebyenfuna, kireetera Klezia essanyu n’essuubi erya nnamaddala.
Bannabiikikira y’abasabye bafeeyo nnyo okulaba nga babeera bazadde ababantu bonna, n’addala abalwadde, ababonaabona, abalekeddwa ettayo, abaana, abasibe, n’ababundabunda.
“Obutume bwammwe bubayambe, era naffe butuyambe okubeera abalamazi ab’essuubi erya nnamaddala. Mumbeera zonna ezitusoomooza, okugeza ez’eby’obufuzi, ez’eby’enfuna, ate ggwe wamma n’emumbeera zaffe n’ebannnaffe, zireme kutumalamu ssuubi. Amaaso gaffe, emitima gyaffe, nebirowoozo byaffe tusigale ngatubitadde ku Katonda,” Omwepiskoopi Jjumba bweyategeezeza.
Ababiikira nga bazza obuggya ebirayiro byabwe eby'obunnaddiini
Nankulu w’ekibiina kino, Mother Noelina Namusoke naye Abasista be y’abasabye bulijjo okusigala nga bagobereea bulungi era nga bassa ekitiibwa mubiragaano byebaakuba eri ekibiina, ne Kristu gwebaasenga era gwebaasalawo okuweereza mu mbeera ey’Obunnadiini.
Katikkio Charles Peter Mayiga y’atenderezza nnyo Ababiikira b’e Bwanda beyagambye nti bakoze omulimo munene okusomesa abaana n’abavubuka Katekisimu, empisa ennungi ez’obuntubulamu, ate n’eby’amagezi mu masomero.
Abasisista ne Bannayuganda bonna y’abagumizza, n’abagamba nti baleme kuggwamu ssuubi olw’obusiwuufu bw’empisa obweyolekera munneeyisa n’ebigambo by’abantu, naddala ebyo ebirabikira ku mitimbagano (social media), ng’abantu bavuma, bawaayiriza n’okutuobola abalala, n’ategeeza nti abasiiwuufu b’empisa ssibangi, naye olw’oba ekibi kirawa okusinga engoma, abantu bwebalaba, oba bwebawulira ebiwaawaaza amatu, balowooza nti abantu bonna baafuuka bakaggw’ensonyi. Bwatyo Abasista y’abasabye obutaterebuka ngabaweereza Katonda.
Okusooka Omubaka wa Paalimenti owa Kalungu West, Joseph Ssewungu yeekokkodde obukuusa bwabannabyabufuzi beyagambye nti beeyama okugoberera Ssemateeka w’eggwanga, kyokka ate nebakola ebimenya Ssemateka. Y’anenyezza n’abavubuka abakozesa obubi emitimbagano, n’abawa amagezi social media bagikozese okunoonya emirimu.
Ababiikira nga bali ne Kattikiro
Kumukolo guno gwegumu, Abasista mukaaga baajaguzza emyaka 25, basatu nebajaguza emyaka 50, ate abalala 7 nebajaguza emyaka 60, mu Bunnaddiini. Waliwo n’Abanooviisi 7 abaakubye ebiragaano byabwe ebisooka nebafuuka Abasisita bekibiina kino.
Omukolo gwetabiddwako ab’ebitiibwa bangi okwabadde Ssabakristu wa Uganda Gervase Ndyanabo, Ssabakristu w’essaza ekkulu ery’e Kampala Emily Kitto Mwaka, Omumyuka wa Pookino Hajj Siraje Ssessaazi, Mwami Joseph Ssewava ow’omu wofiisi ya Pulezidenti, n’Abasista Abaminsane ab'ekibiina kya White Sisters ekyazaala ekya Bannabiikira.
AMANNYA G’ABAGOLE
Abagole abaakubye ebiragaano eby’olubeerera kw’abaddeko Sr Josephine Nakaana, Sr Agnes Nakangu, Sr Teddy Nassali, Sr Flavia Tukahirwa Naturinda, Sr Agnes Nakibuule, Sr Josephine Nambaziira, Sr Nancy Monchari Moseti (ava Kenya), Sr Rose Christine Nakayiza Nabunnya, Sr Jenevivas Mashanyu, Sr Sylvia Namuwonge, Sr Maria Florence Nalinnya, Sr Elizabeth Joyce Nambedha, Sr Prossy Nakkazi, Sr Immaculate Orishaba, Sr Jane Frances Nayiga, Sr Scholastica Katusabe Atwoki Sr Mauricia Nakalanzi, Sr Angella Namatovu, Sr Annet Namuwulya, ne Sr Restituta Nabbona.
Ababiikira nga ne Ssaabasumba
Abaajaguzza emyaka 25 mu Bunnaddiini kwabaddeko Sr Mary Francis Xavier Batenga, Sr Jane Frances Nassiwa, Sr Restituta Kaita Kabasaigi, Sr Immaculate Kyampeire, Sr Juliet Nannyonjo, ne Sr Monica Businge
Abaajaguzza emyaka 50 kw’abaddeko Sr Gerald Babirye Apio Algracea, Sr Mary Adeodata Harriet Nalukwago, ne Sr Ritah Mary Namuddu,
Abaajaguzza emyaka 60 kw’abaddeko Sr Felix Nakaweesi, Sr Maria Credonia Justine Nandawula, Sr Peter Canisius Tereza Bukirwa, Sr Gerardiina Nalikka, Sr Gerald Stephen Philomena Nannyonjo, Sr Philip Neri Maria Nsigadde Nansubuga, ne Sr Maria Verona Immaculate Nalunga.
Abasista abajaguzza Jubileewo mu Bunnaddiini Paapa Francis y'abaweerezza omukisa gwe ogw'Obutume.
No Comment