ABOOBUYINZA mu kibuga Jinja, bakutte omuvubuka eyali omukozi w’awaka mu maka ga Nnaalongo Kubirima ne Swaibu Katongole omusuubuzi omututumufu mu kibuga kino, eyakuba n’atta mukamawe ono n’oluvannyuma n’anyaga eby’omu maka.
Saidi Luk-wago, eyali omukozi mu maka ga Katongole 60, eyattibwa mu maka ge mu kiro nga December 9, 2024 mu kibuga Jinja, ye yakwatiddwa Poliisi ng’ekolagana n’ebitongole by’okwerinda nga bayambibwako abatuuze.
Lukwago, ku Lwokubiri lwa wiiki eno, yakulembeddemu bambega ba poliisi ne bagenda mu maka ga Katongole n’abalaga ebifo eby’enjawulo bye yayitamu okutta Katongole n’oluvannyuma n’abba ebintu omwali ttivvi, bbaatule za loole bbiri n’ebirala. Lukwago, yategeezezza poliisi nti okutta mukama we, bwali busungu, olwa Katongole okumulimiriranga ewa Nnaalongo Kubirima amugobe ku mulimu ogwo.
Kyokka Nnaalongo yabyegaanyi n’ategeeza nga Luk-wago bw’ataagobebwa ku mulimu, wabula ye yagenda ewa maneja eyali amusasula n’amutegeeza nga bwe yali akooye okukola egy’awaka n’asasulibwa n’avaawo.
Omwogezi wa Poliisi mu Kiira sub-region, S.P James Mubi, yakakasiz-za ekya Poliisi okukwata Lukwago n’abalaga n’ebintu bye yali abbye mu maka gano.Omugenzi Katon-gole yaziikibwa December 11, 2024 e Kyazanga mu Masaka.