Amawulire

Alina bbebi wa Ssegirinya agambye olubuto yalufuna omugenzi yaakava mu kkomera

MAAMA w’omwana ow’emyezi omwenda owa Muhammad Ssegirinya alaze engeri gye yasisinkanamu n’omugenzi ku kabaga akamu okukkakkana ng’amutisse olubuto. 

Alina bbebi wa Ssegirinya agambye olubuto yalufuna omugenzi yaakava mu kkomera
By: Musasi Waffe, Journalists @New Vision

MAAMA w’omwana ow’emyezi omwenda owa Muhammad Ssegirinya alaze engeri gye yasisinkanamu n’omugenzi ku kabaga akamu okukkakkana ng’amutisse olubuto. 

Abakungubazi abaabadde mu kuziika Ssegirinya e Butale-Kadugala ku Ssande ya wiiki ewedde be baasoose okwewuunya okulaba omukazi abuusa bbebi ng’amuleese mu bamulekwa. 

Omugenzi Ssegirinya.

Omugenzi Ssegirinya.

Maama w’omwana (yasabye amannya gasirikirwe) yagambye tanenya beewuunya kuba bwe baali beeyagala ne Ssegirinya byali by’ababiri era ensonga zaali za kyama.

Ababiri bano mbu baasisinkana ku kabaga ka Ssegirinya akaamazaalibwa, mikwano gye ke baali bamutegekedde nga tamanyi (surprise party).

 Mwana muwala naye ayasangibwa agenze mu kifo kye kimu kye yagaanye okwogera okwewummuzaamu, yeekanga yeetabye ku kabaga nga tagenderedde.

Ku kabaga kano Ssegirinya kwe yamusosonkera obugambo obwamutengula emmeeme, okukkakkana nga beesanyusizzaamu ng’abantu abakulu.

Wadde nga Ssegirinya yakozesa ebigambo ebinyuvu, kyokka era yasindika asitamye kuba n’omuwala agamba yali yamwegomba dda naye nga tafunanga mukisa kumutuukirira. 

Nnamwandu we

Nnamwandu we

Ekiseera ekyo we baasisinkanira Ssegirinya eyali omubaka wa Kawempe North ne Allan Ssewanyana (Makindye West) baali baakava mu kkomera, okusinziira ku muwala.

Ssegirinya ne Ssewanyana baayimbulwa Kkooti Enkulu e Masaka mu February wa 2023 oluvannyuma lw’okumala emyezi 16 mu kkomera nga tebawozesebwa ku misango gy’okutta abantu mu bitundu by'e Masaka. 

Ssegirinya yategeeza mwana muwala nga bwe yali talina mukyala kuba omuntu gwe yalina yali yagenda ku kyeyo nga si waakudda mangu.

Wano omuwala yayongera okuguma omutima n’amanya nti Katonda ayinza okuba amugguliddewo okufuuka Muky. Honalebo. 

Nga wayise omwezi gumu n’ekitundu omuwala yakizuula nga yali afunye olubuto era n’akubira Ssegirinya essimu.

“Nakubira omubaka essimu ne mutegeeza bwe nafunye olubuto. Yantegeeza nti yali mu Palamenti n’andagira muweereze eddoboozi ku ssimu. Bwe yategeera yatandika okukyuka mu mbeera mpola nga simutegeera ng’alinga atayagala kuzaala.

 Naye nalemerako ne ng’amba nina okuzaalako mu mubaka,” maama w’omwana bwe yagambye. Waayita ebbanga ttono, omuwala n’ategeeza Ssegirinya nga bwe yeetaagayo ku ssente zisobole okumuyambako mu bizinensi.

Yamusaba amuweemu ebbanga lya mwezi gumu amale okufuna ssente, kyokka agenda okuddamu okuwulira nga bamututte ebweru okufuna obujjanjabi. 

Bwe yabuuziddwa oba ng’anaatwala omwana okumukebera endabutonde (DNA) ng’abamu bwe basaba, yagambye nti takirinaako buzibu kasita kibeera nga kikolebwa mu ngeri ennambulukufu.

Ekimu ku kigumya maama w’omwana kwe kubeera nga maama wa Ssegirinya (nnyazaala we) amanyi bulungi omwana kuba atera okumumutwalira n’amulabako e Mmengo. 

Yalumirizza baganda ba Ssegirinya babiri n’omuyambi w’omugenzi, Alex Luwemba nga nabo bwe bamumanyi. Ku ky’obungi bw’abaana Ssegirinya be yalese yagambye nti yalabyeko 8 n’abakazi munaana n’agamba nti bano si baggya be kuba ku bonna tewali abadde mu bufumbo butongole.

 Era bonna abatwala nga baganda be, kuba baazaala mu musajja omu. Mu kiseera kino alinda omwana akulemu asobole okubaako gwamulekera ye asobole okugenda ku kyeyo okunoonya ssente. Kyokka bwe wabaayo omuzirakisa awa omwana we obuyambi amwaniriza kuba mu kiseera kino tamanyi ngeri gy’agenda kumukuza kuba talina buyambi bwe yaafunye.

Tags:
Amawulire
Muhammad Ssegirinya