Amawulire

Basambazze eby'okwagala okuttira Besigye mu kkomera

Ekitongole ky'amakomera, kiwakanyizza ebibungeesebwa nga bwe baagala okuttira Rtd Col. Dr. Kiiza Besigye mu kkomera, ne kitegeeza nti kino si kituufu.

Basambazze eby'okwagala okuttira Besigye mu kkomera
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Ekitongole ky'amakomera, kiwakanyizza ebibungeesebwa nga bwe baagala okuttira Rtd Col. Dr. Kiiza Besigye mu kkomera, ne kitegeeza nti kino si kituufu.

 

Eng’ambo zizze zibungeesebwa nga Col. Besigye bwe yagaanyi okulya emmere, bwe yagaaniddwa okumuleetera emmere okuva ebweru w'ekkomera, okumugaana okusisinkana abantu be, n'okulumiriza ekitongole ky’amakomera nti baagala kumuttira mu kkomera.

Omwogezi w'ekitongole ky'amakomera Frank Baine, asambazze ebyo byonna n'agamba nti sibituufu.

Annyonnyodde nti guno si gwe gusoose okubeera ne Besigye mu kkomera nti kuba azze akwatibwa ku misango egy'enjawulo ne bamubatwalira era ne bamukuuma ng'abasibe abalala, ekiseera bwe kituuka n'ayimbulwa nga tafunye kamogo.

Tags:
Kkomera
Kitongole
Besigye
Kwagala
Kutta