Abaakubwa amasasi e Kamwokya ku Acacia Mall baali babbi ba lulango - Poliisi

Jan 20, 2025

Poliisi ekikkaatirizza nti abantu omukaaga abaakubibwa amasasi agaabattira e Kamwokya mu wiiki ewedde, baali babbi ba lulango era nga babanoonya.

NewVision Reporter
@NewVision

Poliisi ekikkaatirizza nti abantu omukaaga abaakubibwa amasasi agaabattira e Kamwokya mu wiiki ewedde, baali babbi ba lulango era nga babanoonya.

Bino byaliwo nga January 13 omwaka guno, abasajja 6 nga kigambibwa nti baali mu lukwe lw'okubba bbanka ku Acacia mall e Kamwokya  mu Kampala , bwe baakubwa amasasi, agaabatta.

Abattibwa, kuliko Amis Muhammad eyali amanyiddwa nga Chemical, Sharif Lukwago, Fahad Katongole, Innocent Tushabe, n'abalala ate ye Muzamiru Kamoga yakwatibwa.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, yagambye nti bano baludde nga babanoonya ku bubbi obw’enjawulo.

Annyonnyodde nti nga Jan 11 ekibinja kye kimu babba obukadde 100 e Maganjo, nga Jan 14 ne babba obukadde obusoba mu 30 mu Industrial area.

Nga Dec 9, 2024, babba obukadde obusoba mu 57, nga Dec 16 , babba ssente ku mukulu w'essomero e Kira kyokka abatuuze ne bafumbikiriza Sewakiryanga ne bamukuba ne bamutta.

Nga June 2024 , babba obukadde obusoba mu 300. Kituuma annyonnyodde nti okubuuliriza mu kikwekweto kino, baakukola  wakati mu kuwabulwa kwa minisita n'omuduumizi wa poliisi.

Wabula annyonnyodde nti ,bakyagenda mu maaso n'okubuuliriza ku maanyi agayitiridde, agayinza okuba nga gaakozesebwa mu kikwekweto kino.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});