Abaawangudde eza Miss & Mr Bukedde beesunga kulinnya bbaati
Jan 27, 2025
EMPAKA za Miss ne Mr Bukedde sizoni eyookuna, “Linnya ebbaati’, zikomekkerezeddwa mu bbugumu.

NewVision Reporter
@NewVision
EMPAKA za Miss ne Mr Bukedde sizoni eyookuna, “Linnya ebbaati’, zikomekkerezeddwa mu bbugumu.
Leticia Nalwoga 24, ow’e Lugala ne Masaka nga muyizi ku MUBS ye yawangudde ekya Miss Bukedde 2025 ate Brian Mukasa Ssebbanja n’awangula ekya Mr Bukedde.
Mr Bukedde Brian Ssebbanja Ne Miss Bukedde Letecia
Ababiri Miss ne Mr buli omu yaweereddwa ekyapa ky’ettaka okuva mu bavujjirizi aba Njovu Estate Developers e Nansana wamu n’olugendo lw’okugenda e Dubai okukwata ennyimba eziri ku mutindo ogw’ensi yonna
nga byonna bikoleddwako aba Al’Hassan Tours and Travel abasangibwa ku Equatorial Mall.
Elisamu Nuwaha ow’e Mbarara ye yakutte eky’okubiri ku ludda lwa Mr ate Samantha Namubiru ow’e Ndejje ku ludda lwa Miss era bano buli omu yakwasiddwa ceeke ya bukadde bubiri (2,000,000/-) wamu n’okuwangula olugendo lw’e Dubai okugenda okukwata ennyimba zaabwe.
Muzafar Yiga ow’e Bulenga ne Rita Maria Nansikombi ow’e Mengo be baakutte ekyokusatu era bano buli omu yaweereddwa ceeke ya 500,000/- n’ebirabo ebirala.
Abaasaze empaka, Cindy ne Batte (ku kkono) nga bawayaamu.
LABONITA YAWUUMYE
Empaka zabaddewo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde ku Theater Labonita. Essaawa zaagenze okuwera 6:00 ogw’emisana ng’emiryango egiyingira mu Theater Labonita gibengeredde nnamungi w’abantu abazze okubaawo
ng’abajulizi abawanguzi b’empaka za Miss ne Mr Bukedde sizoni eyookuna linya ebbaati nga balangirirwa.
Bano baayaniriziddwa embuutu ezaabadde zivuga nga ziwerekedwaako abazinyi ssaako abakozi ba Bukedde TV ababaddewo nga baaniriza abatuuka. Ebirala birinde mu Bukedde w’enkya.
No Comment