Omugagga w’omu Kikuubo agobye ‘bampale enywera miguwa’ ku muwala we
Jan 30, 2025
OMUGAGA w’omu Kikuubo atonedde muwala we emmotoka ya buwanana ku kabagaakamukulisa emisomo n’amugobako abasajja ‘ba mpale enywera miguwa’.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUGAGA w’omu Kikuubo atonedde muwala we emmotoka ya buwanana ku kabaga
akamukulisa emisomo n’amugobako abasajja ‘ba mpale enywera miguwa’.
Hajji Nassser Sserubidde, atunda engatto mu Kikuubo nga mutuuze w’e Ndejje-Lubugumu ebigambo bye yayogedde ku kabaga nga muwala we Jamira Nasser Nakafu ajaguza okukuba ebitabo oluku mu mutwe bangi ku baabaddewo byabakubye wala.
Nakafu abadde asomera ku Makerere University Business School (MUBS) yatikkiddwa mu bya bizinensi era ne bamukolera akabaga mu maka ga kitaawe e Ndejje.
Hajji Sserubidde bwe yabadde awa Nakafu emmotoka ekika kya Toyota Tx yategeezezza nti, kye kimu ku bintu bye yasuubiza muwala we ng’atandika okusoma era musanyufu ku mutima nti, asobodde okukituukiriza.
Yagambye nga ye bw’atali ku bya ono omuvubuka mmumanyi, noolwekyo asaanidde okutwala muwala we, ye ayagala omusajja yenna anaakima Nakafu okujja ng’azitowa bulungi.
“Nsaba Allah muwala wange amuwe omubeezi omugagga okunsigako’’.
Sserubidde yategeezezza ng’alabula abasajja abateesobola bulungi okusooka okwesonyiwa muwala we.
Yagambye nga bwali n’omwetegefu okutwala muwala we e Mecca okusaba Allah amusobozese okufuna omusajja omugagga anaasobola okumubeezaawo.
Hajji Sserubidde era yagambye muwala we nti, diguli eyo mu bya bizinensi gye yasomye yabadde tagiwulira bulungi nga noolwekyo ayagala amuweerere addeyo e
Makerere asome amateeka. Omukolo guno gwetabiddwaako ab’ebitiibwa bangi okwabadde Minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda, Supreme Mufti Muhammad Galabuzi, Ambassada wa Namibia Godfrey Kirumira n’abalala
No Comment