Poliisi ekutte abantu 30 mu kikwekweto kyayo e Rubaga ne Nansana

Abantu 30 bakwatiddwa mu kikwekwetoekikoleddwa e Rubaga ne Nansana mu kaweefube w'okufuuza abakyamu.

Poliisi ekutte abantu 30 mu kikwekweto kyayo e Rubaga ne Nansana
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Nansana #Poliisi #Bantu #Rubaga

Abantu 30 bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa e Rubaga ne Nansana mu kaweefube w'okufuuza abakyamu.

Abamu ku baakwatiddwa nga bali n'ebiragalalagala.

Abamu ku baakwatiddwa nga bali n'ebiragalalagala.

E Rubaga , ekikwekweto kiyindidde okumpi n'ebbaala lya Monalisa e Kabuusu era ng'abantu bataano okuli Vicent Kawooya, Wycliff Kitayimbwa, Muhammad Ali, Abdil Wolly ne Eriya Kula be bakwatiddwa.

 

Kigambibwa nti basangiddwa n'enjaga, ebyuma ebyeyambisibwa mu kumenya, ennyondo era nga basiddwako emisango gy'obubbi.

Ekikwekweto ekirala, kibadde Katooke A ne Katooke B mu munisipaal iy’e Nansana mu Wakiso, gye bakwatidde ba Kasolo Group 24 abagambibwa okwenyigira mu kusikambula amasimu, obusawo n'okumenya amayumba.

Ono baamusanze ne nnamba puleeti y'emmotoka

Ono baamusanze ne nnamba puleeti y'emmotoka

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, ategeezezza nti omu ku baakwatiddwa, abatuuze bamulumirizza okwenyigira mu kutunda enjaga.