Lwaki She Cranes ewewuse

Feb 10, 2025

TTIIMU y’eggwanga ey’okubaka (She Cranes) ekomawo leero mu ggwanga okuva e Bungereza gye yabadde mu mpaka za Vitality Netball Nations Cup mu kibugaNottingham.

NewVision Reporter
@NewVision

TTIIMU y’eggwanga ey’okubaka (She Cranes) ekomawo leero mu ggwanga okuva e Bungereza gye yabadde mu mpaka za Vitality Netball Nations Cup mu kibuga
Nottingham.

Ttiimu eno omutindo gwe yayolesezza gwabadde gwa kibogwe nnyo okwawukanako n’empaka z’ebadde etera okwetabamu ku mutendera gwa Afrika n’ensi
yonna.
Eggulo, She Cranes yattunse ne Malawi mu gwokulwanira ekyokusatu.
Mu mpaka zino mubaddemu ttiimu 4 zokka era zonna ne zikuba She Cranes ng’ekisinga obubi ggoolo zaasusse obungi kuba obwedda bagisinga ggoolo ezisukka
10 ekibadde kirudde okubaawo. Ekimu ekisinga kutabula Bannayuganda, bwe bukulembeze bw’ekibiina ekitwala omuzannyo guno obupya okusuula omuzibizi Faridah Kadondi.
Omuzannyi ono ali ku pulo mu Nottingham Forest Netball Club kyokka nga n’empaka zino gye zibadde nga yandibadde waamugaso nnyo olw’ebintu bibiri.
Ekisooka, Kadondi alina obumanyirivu nga kyangu okubukozesa okuyamba abazannyi ab pya ate mu kiseera kye kimu mu Nottingham alinamu obuwagizi ate n’embeera yaamu agitegeera nnyo okusinga abalala abali ku ttiimu eno.
Emyaka ebiri Kadondi gye yaakazannyira She Cranes, omuli ne World
Cup 2023, y’omu ku babadde basinga okukolaobulungi ng’abba nnyo emipiira ssaako okukozesa obwongo ng’era muzibu okuyitako.
Omwaka oguwedde mu za Fast 5 Netball World Series e New Zealand, Kadondi yalondeddwa ku ky’omuzannyi w’olunaku mu nsiike bbiri.
EBIRINA OKUKOLEBWA
Abazannyi okubateerawo omuwendo gwa ssente omutuufu gwe balina okufuna mu buli mpaka ate zibaweebwe mu budde. Kiyinzika okuba ng’abamu tebakyewaayo lwa mbeera mbi. Pulezidenti wa Netball, Jocelyn  Ucanda atandike okuzimba ebitone
ebito ku She Cranes. Kino kyakwongera okuvuganya mu ttiimu kuba kati ennamba
ezisinga teziriiko kuvuganya. Omutendesi okuweebwa endagaano etegeerekeka kusinziira ku bukugu bw’alina. Ekirala okukyusa abatendesi buli lwe baagadde kisuula= omutindo. Ucanda alina okulwana embalirir ya Netball okuva mu  Gavumenti eddeyo ku
 uwumbi busatu gye zaali. Olw’entalo eziyitiridde, Gavumenti yasala ssente zino okuzituusa ku bukadde 300. Liigi ey’ekibinja kya wansi n’eyoku ntikko zirinaokuddamu okuzannyibwa.
Akakiiko k’ebyakitunzi ku ttiimu y’eggwanga kalina okufunibwa  okunoonyeza ttiimu
abavujjirizi nga bwe gubadde ku mulembe gwa Babirye
Kityo. Kakondi y’ani? Muwala wa Muhammed Pinde ne Zuraika Katek Pinde
mu disitulikiti y’e Butalejja.
Alina diguli mu mawulire gye yafunira mu Kampala University ate S.6 yagituulira
ku Luyanzi college e Bweyogerere sso nga S.4 yagituulira Kibuli SS ne P.7 ku Bugosa P/S Butalejja.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});