Omugagga asinga ebizimbe mu Kololo ayise abaana be abasisinkane

OMUGAGGA Mohan Musisi Kiwanuka 75 ow’e Kololo ayise abaana be boogere ku butakkaanya obuli mu ffamire.

Mohan Kiwanuka
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUGAGGA Mohan Musisi Kiwanuka 75 ow’e Kololo ayise abaana be boogere ku butakkaanya obuli mu ffamire.
Abaana be beyayise kuliko; Riad Batanda Kiwanuka, Jordana Kiwanuka Hass ne Adnan Dean Kiwanuka abaamutwala mu kkooti ne bamuggulako emisango egy’ekuusa ku by’obugagga kyokka n’abawangulira mu kkooti.
Mu bbaluwa Bukedde gye yafunyeeko kkopi, omugagga Kiwanuka yawandiikidde abaana bonsatule ng’agamba nti abantu bangi bamutuukiridde nga bamugamba
nti batumiddwa abaana akkirize bamusisinkana bateese ku nsonga za ffamire, kyokka ekyo abadde akyakigaanye kubanga abaana abo abasatu baasalawo okudda mu ludda
lwa munnaabwe Jordan Sebuliba eyasalawo okwewaggula n’abawabya nabo ne bafuuka bakiwagi.
Kiwanuka yajjukiza abaana be nti yabasomesa mu masomero agasingayo era n’abakuza mu mpisa ennungi omuli okuwa abakulu ebitiibwa era n’okubeera abakozi n’okubeera abeesimbu okufaanana nga naye (Kiwanuka) bwe yakuzibwa bazadde be.
Kyokka baasalawo okweyisa ng’ekitagasa bwe beegatta ku Sebuliba ne bajingirira endagaano nga bayita mu kkampuni ya owerhill Management Limited ne bagenda mu kkooti n’okukozesa amawulire ne bamutulugunya, okumuliisa akakanja n’okumwogerako kalebule, so nga ye muntu waakitiibwa era alina erinnya.
Yagambye nti abaana abo bwe baasalawo okufuuka bamawale ne baviira ddala ku kuwabulwa kwa ffamire n’emikwano gya ffamire, yasalawo kkooti eramule era
emisango 8 gye baamuggulako yagiwangula gyonna naye ye talina buzibu kutabagana nabo singa baggyayo emisango mu kkooti era bamwetondere nga kitaabwe oluvannyuma bagende mu maka ge e Kololo boogere ku nsonga zonna.
Ensonda mu ffamire zaategeezezza nti Kiwanuka bye yasaba abaana be bakole tebaabikola era emisango  egimu baagitwala mu kkooti ejulirwamu era tebanneetonda
Bino we bijjidde nga kkooti enkulu mu Kampala  eyisizza kiragiro ekiwa abooluganda
ba Kiwanuka olukusa okumulabako buli we baba baagalidde,  luvannyuma lw’okumatiza kkooti nti mulwadde takyasobola kwesalirawo. Kkooti okuwa ekiragiro kino kyaddiridde bannyina ba Kiwanuka: Jalia Muwanga, Nantege Yudaya, Nsereko, Berti Nsereko Kawooya ne Sarah Nsereko abaatwala okusaba kwabwe mu kkooti nga
baagala kkooti esalewo abakkirize bamulabe nga bagamba nti yafuna obukosefu ku mutwe era takyetegeerera, naye nga abamulina kino babadde bakiwakanya