Amagye ga UPDF geegaanyi eby’okukwata Nyanzi

Feb 19, 2025

AMAGYE geegaanyi okubeera n’akakwate ku kukwatibwa kwa ssaabakunzi wa NUP, Fred Nyanzi Ssentamu ku Mmande.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

AMAGYE geegaanyi okubeera n’akakwate ku kukwatibwa kwa ssaabakunzi wa NUP, Fred Nyanzi Ssentamu ku Mmande.
Nyanzi, yakwatiddwa ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi bwe yabadde Kubbiri okumpi n’ekitebe kya NUP. Yabadde mu mmotoka ye ekika kya Land Cruiser ng’ali
n’amyuka omwogezi w’ekibiina, Alex Waiswa Mufumbir ga boolekera Nakawa
okubaako abantu be basisinkana.
Omwogezi w’amagye,
Brig Gen.Felix Kulaigye yategeezezza nti yawuliddeko nti Nyanzi yakwatiddwa naye tannamanya atuufu w’ali era nabo nga amagye bakyamunoonya.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti ebintu bya Nyanzi tayinza kubyogerako.

NUP ERIKO B’ERUMIRIZA
Amyuka omwogezi w’ekibiina Alex Waiswa Mufumbiro yategeezezza nti ffamire ya Nyanzi ng’ekulembeddwa mukyala we baagenze ku poliisi ye Wandegeya ne bakola sitetimenti, wabula poliisi n’ebategeeza nti baakufuba okulaba nga bamuzuula naye nga baabadde tebannamanya gye yatwaliddwa.
Waiswa yagambye nti ekibiina kigenda kufumya ekiwandiiko ekitongole na kiki kye
bagenda okuzzaako leero, ku Lwokusatu ku bya Nyanzi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});