Yiino ensunsula y’abayizi b’omwaka guno abagenda mu S5

Feb 21, 2025

OKUSUNSULA abayizi abagenda okwegatta ku S5 omwaka guno kwatandise eggulo ku Lwokuna nga kukomekkerezebwa leero ku Lwokutaano e Lugogo mu Munisipaali y’e Nakawa.

NewVision Reporter
@NewVision

OKUSUNSULA abayizi abagenda okwegatta ku S5 omwaka guno kwatandise eggulo ku Lwokuna nga kukomekkerezebwa leero ku Lwokutaano e Lugogo mu Munisipaali y’e Nakawa.

Okutwaliza awamu ensunsula teyawukanye n’ebaddewo bulijjo ng’amasomero okuwa omwana gasinziira ku ngeri gye yakoze mu masomo omunaana ge yasinze okukola obulungi.

Abamu ku baheedimasita nga basunsula e Lugogo.

Abamu ku baheedimasita nga basunsula e Lugogo.

Omuyizi atwala amasomo amakulu 3, kw’agenda okwongereza IT oba Sub Math, General Paper ne Project Work eri abayizi abaamalirizza S4 mu nsomesa empya. Ate abayizi ab’ensomesa enkadde baakusigala ku nkola ebaddewo nga teriiko Project Work kyokka nga bye basoma byafunziddwaamu okuva ku bingi ebibaddewo naye ng’ebimu tebikyagasa.

Omuyizi okuweebwa ‘Combination’ alina okuba nga mu masomo g’ayagala okukola mu S5 ne S6 yafunyeemu okuva ku D, C, B oba A okusinziira ku ssomero bwe lyasazeewo okukoma. Essomo lye yafunyeemu E terimuweebwa ku S5.

Mu kusunsula kuno, amasomero amanene gaasinze kulonda abayizi abalina A zokka mu masomo ge baagala okukola, ate amalala ne gakkakkanyaamu nga ku masomo 3 oli g’ayagala bw’abaako ly’alinamu B, bamuwa.

 

Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’Ebyenjigiriza, Kedrace Turyagyenga ng’aggulawo okusunsula abayizi, yasuubizza nti minisitule nneetegefu okwanjula ensomesa empya gye baakozeeko edda nga baakutandika okutendeka abasomesa ku Mmande ya wiiki ejja. Yalabudde abakulu b’amasomero ku basomesa abajingirira ebiwandiiko bya ‘Transfer’, n’abasaba okwongera okuyamba abazadde okubategeeza ku nsomesa empya.

Ate Dr. Jane Egau, omuwandiisi wa Minisitule ow’ekyama era akulira akakiiko ka Minisitule y’ebyenjigiriz akasunsula amasomero (Placement Committee) yeebazizza abakulu b’amasomero abaasobye mu 250 abeetabye mu kusunsula kw’omwaka guno n’ategeeza nti abayizi abaayita ne baweebwa ebbaluwa za S4 si bonna nti basobola okugenda mu S5.

Yasabye amasomero obutayingiza bayizi batalina bisaanyizo. Yagambye nti abayizi abatasobola kweyongerayo mu S5, basobola okugenda mu matendekero amalala ne basoma ebyo bye basinga okubaamu n’obusobozi oba beetandikirewo emirimu mu ebyo ebyalagiddwa nti babisobola.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});