Omuzadde yenyodde n'abasirikale ng'awakanya eky'okukwata mutabani we
Feb 23, 2025
MAAMA atabukidde abasirikale n'abayoola ebigwo ng'abalemesa okukwata mutabani we ekibawalirizza okukuba amasasi okutaasa embeera

NewVision Reporter
@NewVision
MAAMA atabukidde abasirikale n'abayoola ebigwo ng'abalemesa okukwata mutabani we ekibawalirizza okukuba amasasi okutaasa embeera
Akanyolagana kano kaabadde mu Dobbi zooni mu muluka gwa Makerere III e kawempe abasirikale baabadde bwe bagenze okukwata Akrim Bbosa omu bamenye b,amateeka ab,omutawaana kyokka omu ku batuuze Bashir Lukyamuzi n’aemesa abasirikale ng’ababuuzza gye bamutwala okukakana ng’apakizza omusirikale empi nga wano olutalo we lwatandikidde.
Maama nga yenyoola n'abasirikale
Jane Namulindwa yagambye nti bbo baabadde bAagala Bbosa ng’obuzibu bwonna bwavudde ku Lukyamuzi kukuba musirikale luyi ate Sarah Bukirwa (omuzadde) eyabadde ku bbaala ye we yatandikidde okusakanya nti temulina gye mu mutwala (Lukyamuzi) we yagiddeyo essimu akube ebifaananyi abasirikale we bamuganidde wano mutabani we Yakub Bawakanya omu ku bamenyi b’amateeka ab’olulango we yaviriddeyo okutaasa maama we
.Yagasseko nti wano we yakwatidde emmundu naye omusirikale yakozesezza obukungu namusinza amaanyi nagimujjako ne bamukwata Bukirwa nasituula olutalo ng’abawakanya okumutwala yenyodde n’abasirikale oluvannyuma abasirikale baabasinzizza amaanyi ne babatwala ku poliisi ne babagalira wabula Bukirwa tekyamubalidde ne poliisi nalumba abasirikale n’ayoolako omu ng’okutuusa Asp Rogers Musana we yabaatasizza .
Bukirwa yategeezezza nti yabadde talemesa basirikale kutwala Lukyamuzi yabadde ayagala ave ku piki piki ye gye yabadde yekutteko obutamutwala ng’ayinza okugisuula n’eyonooneka nga mutabani we yagidde naye ne bamukwata nga tamaanyi musango gumukwasizza we yaviridde mu mbeera
ASP Rogers Musana akulira poliisi y’oku kaleerwe yagambye nti poliisi yawaliriziddwa okukuba amasasi mu banga olw’omuvubuka Bawakanya eyabadde ageezzako okujja e mmundu ku musirikale ng’ate y’omu ku bamenyi b’amateeka ab’omutawaana mu kawempe ng’abantu bangi okuli n’abakulembeze mu kitundu abamwemulugunyako we yasabidde abantu okukomya okulemesa abasirikale okukwata abakyamu kuba kimenya mateeka n’abasaba okukolagana n’ebitongole ebikuuma ddembe
No Comment