Omulangira Golooba aziikibwa leero

Feb 25, 2025

OMULANGIRA Daudi Ssimbwa Kazibwe Golooba, 71 nga ye mukulu wa Kabaka Mutebi II aziikibwa leero mu masiro e Kasubi mu nkola y’Ekiyisiraamu.Mu nteekateeka eyafulumiziddwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, wagenda kusookawo okusabira omwoyo gwe mu muzikiti e Kibuli okutandika n’essaawa 4:00 ez’okumakya.

NewVision Reporter
@NewVision

OMULANGIRA Daudi Ssimbwa Kazibwe Golooba, 71 nga ye mukulu wa Kabaka Mutebi II aziikibwa leero mu masiro e Kasubi mu nkola y’Ekiyisiraamu.
Mu nteekateeka eyafulumiziddwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, wagenda kusookawo okusabira omwoyo gwe mu muzikiti e Kibuli okutandika n’essaawa 4:00 ez’okumakya.
Mayiga yagambye nti mu bbanga ly’obulamu bwa Golooba erisembyeyo yasalawo n’asiramuka ng’eno y’ensonga lwaki okumuziika kugenda kugoberera njigiriza ya busiraamu.
Omulangira yafudde ku Ssande mu ddwaaliro e Nsambya era amaze akabanga ng’atawaanyizibwa obulwadde bwa sukaali. Ajjanjabiddwa wano, Kenya, e Bungereza okumala ebbanga,” Mayiga bwe yayogedde.
Mayiga era yalangiridde olukiiko olwateekeeddwaawo okukola ku by’okuziika Omulangira ono nga lukulirwa Polof. Hajj Twaha Kaawaase, omumyuka asooka owa Katikkiro era Minisita wa Tekinologiya, obuyiiya n’entambuza y’emirimu mu Bwakabaka ng’amyukibwa Dr. Anthony Wamala, Minisita w’ebyobuwangwa n’ennono. Abalala abali ku kakiiko kano kuliko; Noah Kiyimba, Israel Kitooke Kazibwe, Bbaale Mugera, abakungu mu ggwanika lya Buganda n’abalala.
Eggulo akawungeezi waabaddeyo okukuma olumbe mu maka ge e Kasanga era leero olunaava e Kibuli, omubiri gwe gwakwolekera Kasubi. Mayiga yagambye nti waakuteerwako omusika oluvannyuma lw’okuva e magombe.
Omulangira Golooba yazaalibwa mu 1953 so si 1955 nga bwe twasoose okuwandiika

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});