Maama n'omwana abaabuziddwawo beewanisizza abaffamire emitima
May 21, 2025
POLIISI e Busaana mu Kayunga, eri mu kunoonya omwana omuwala ow'emyaka 12 ne nnyina, ababuziddwawo mu ngeri etannamanyika.

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI e Busaana mu Kayunga, eri mu kunoonya omwana omuwala ow'emyaka 12 ne nnyina, ababuziddwawo mu ngeri etannamanyika.
Shamim eyabuze.
Bino biri ku kyalo Wampologoma mu ggombolola y'e Busaana mu disitulikiti y'e Kayunga, Shamim Kamedi 12 bwe yabuze nga May 16 omwaka guno so ng'ate nnyina Zalika Nalawo ye yasooka okubula nga July 28, 2022.
Kamedi abadde muyizi ku ssomero lya Busaana R/C P/S era ng'okubula, yaggyiddwa waka. Abooluganda bagguddewo emisango ku poliisi e Busaana egy'okubula.
Omwogezi wa poliisi mu Ssezzibwa Hellen Butoto, agambye nti omuyiggo gw'abantu bano, gugenda mu maaso okuzuula wa gye bali , basobole okuddizibwa mu ffamire zaabwe.
No Comment