LOOLE y'emigaati esaabadde boodabooda okubadde William Ssebuuma amaanyiddwa ennyo nga mc Lwasama eyayatiikirira ennyo mu bbaala ne'e bivvulu mu Nansana ne miriraano.
William Ssebuuma kati omugenzi
By Kiragga Steven
Journalists @New Vision
LOOLE y'emigaati esaabadde boodabooda okubadde William Ssebuuma amaanyiddwa ennyo nga mc Lwasama eyayatiikirira ennyo mu bbaala n'e bivvulu mu Nansana ne miriraano.
Poliisi ng'eggyawo omulamo gwa MC
Mc Lwasama Ssebuuma William yabadde ava mu ddwaliro e Kawempe okulaba mukaziwe eyazadde era yalinye booda okumutwala ewuwe e Nansana nga wano ekimotoka gye kibasanze ne kibasaabala ne kibakulula ne basigala bulele.
Akabenje kano kasanyalaaza ebyentambula naddala ku luguddo oludda e Hoima era poliisi ye bidduka efubye okukakkanya akalipagano ke bidduka mu kaweefube wokuggyawo emirambo n'okutaasa abalala abakozesa oluguddo luno.