Omulangira Golooba aterekeddwa mu Masiro e Kasubi

OMULANGIRA Daudi Simbwa Golooba yaziikiddwa eggulo ku Lwokubiri mu Masiro e Kasubi n’atenderezebwa olw’okukuuma ekitiibwa kya Nnamulondo n’Obwakabaka ng’ayamba ku mutoowe Kabaka Mutebi II okutambuza emirimu.

Nnabagereka Sylivia Nagginda (owookubiri ku ddyo), Nnalinya Dinah Kigga (ku ddyo), Omulangira David Wasajja ( ku kkono) n’abalala ku mukolo gw’okutereka Omulangira Daudi Golooba.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMULANGIRA Daudi Simbwa Golooba yaziikiddwa eggulo ku Lwokubiri mu Masiro e Kasubi n’atenderezebwa olw’okukuuma ekitiibwa kya Nnamulondo n’Obwakabaka ng’ayamba ku mutoowe Kabaka Mutebi II okutambuza emirimu.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yasinzidde ku mukolo gw’okuziika e Kasubi n’agamba nti Omulangira Golooba emirundi mingi abadde tava ku lusegere
lwa Kabaka buli lw’alabikako eri Obuganda.
Mayiga yagambye nti; “Ebbanga  lye tubadde n’Omulangira, abadde awagira Nnamulondo. Abadde akikola ng’ayita mu nteekateeka z’Obwakabaka eziwerako naddala nga Kabaka waali. Obuganda busanyuka nnyo, bwe bulaba Abalangira abakulu naddala ku mikolo nga Kabaka waali.” Golooba eyafa ku Ssande, alese abaana bataano; Brenda Nakayenga, Agnes Zalwango, Ashanti Nabaloga Tebattagwabwe, Daudi Chwa ne Ssuuna Mukaabya.
Muzzukkulu we Najib Nakibinge azaalibwa mutabani we, omugenzi Ssimbwa Ssekamanya gwe yalaamira amusikire. Omubiri gwe gwatuusiddwa mu masiro e Kasubi ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu ne guyingizibwaako mu nju Muzibwazaalampanga
ekintu Nnaalinya w’amasiro gano, Beatrice Namikka kyeyannyonnyodde abakungubazi nti kaabadde kalombolombo k’okutuusibwako mu bakadde be kubanga azaalibwa
Ssekabaka Muteesa II.
Mu kusooka waabaddewo okumusaalira ku muzikiti e Kibuli nga kwakulembeddwaamu Supreme Mufti Sheikh Mohammad Galabuzi.
Jjajja w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge yabuulidde abakungubazi nga Golooba bwe yasiramuka emyaka ena egiyise era omukolo gw’okumuyingiza mu Busiraamu gwakolebwa e Kibuli n’akwasibwa Sheikh Ssekikubo okumutendeka.
Nakibinge yagambye nti okuva
olwo,abadde taddanga mabega nga buli lunaku ayiga ebikwata ku Busiraamu era nti abadde muddu wa Allah yennyini.
Omukolo gw’okuziika gwetabiddwaako Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Bannalinya okuli Dorothy Nassolo ng’ono ye yayogedde k w’enju ya Ssekabaka Muteesa II,
Dinah Kigga, Sarah Kagere, Dr. Agnes Nabaloga, abaaliko Bakatikkiro ba Buganda Joseph Ssemwogerere ne Ying. JB Walumbi n’abakungu abalala ne bannaddiini.  Emikolo gy’ennono okusumikira Nakibingegigenda kukolebwa olwaleero (Lwakusatu)
 mu maka ga Golooba e Kansanga mu munisipaali y’e Makindye