KYADDAAKI omu ku bakyala ba kyewaggula, Joseph Kony n’abaana be bakomyewo mu Uganda okuva mu bibira bya Central African Republicm bba gye yaddukira n’ekibinja ky’abakeeyera ba ADF.
Baayaniriziddwa minisita w’ensonga z’obukiikaddyo, Dr. Kenneth Omona nga baawerekeddwaako Filbert Gbangona Dabira okuva mu Central African Republic.
Achan Judith mukyala wa Kony yakomyeewo n’abaana be okuli, Pope Kony, Akidi Betty ne Amy Maisa era baayaniriziddwa mu ssanyu oluvannyuma lw’okukkiriza okukomawo mu ggwanga mu mirembe. Minisita Omona yagambye nti musanyufu okuba ng’abantu bano bakomyeewo mu ggwanga n’ategeeza nti olw’enkolagana ennungi wakati wa Uganda n’eggwanga lya Central African Republic, abakulembeze b’amawanga gombi baatuuka ku kukkiriziganya okuba ng’abantu bano bateebwa.
Yategeezezza olw’enkolagana eno bakkaanya nti omulwanyi yenna oba omuyeekera akkirizza okwewaayo waakukomezebwaawo mu Uganda n’abantu be era batendekebwe eby’emikono basobole okwekolerera.
Ayongeddeko abantu abalala 166 be baakomawo okuva mu Central African Republic era bali mu kutendekebwa ebyemikono mu Transit Camp e Gulu. Dabira eyakulembeddemu okukomyaawo abantu bano yagambye nti enkolagana ya ba Pulezidenti, Museveni n’owa Central African Republic Fautine Archangel Touadera ennungi y’esobozesezza abantu bano okudda mu Uganda