POLIISI y’e Wakiso ezingizza abavubuka abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw’ente
n’ebakwata.
Yabakwatidde ku kyalo Mpunga mu town council ya Wakiso nga baliko gwe batutte
okuguza ente enzibe.
Abaakwatiddwa kuliko; Geoffrey Musisi, William Akankwasa, Innocent Mucunguzi
ne Christopher Mugerwa nga bano poliisi yabazinzeeko nga begabanyizza ebifo mwe
baabadde balukidde pulaani y’okutunda ente.
Ababiri baabadde batambulira ku piki piki ekika kya Tvs Star nnamba UFF 572W ate abalala nga bali mu kifo ente we zaabadde nga boogerezeganya ku ssimu ne gwe baabadde bagenda okuziguza.
Poliisi y’e Wakiso ng’ekulembeddwa akulira ebikwekweto, Benard Ogang yasazeeko ekyalo Mpunga n’ebataayiza era baasoose kukwatako babiri, abalala ne bagezaako okudduka olwo poliisi n’egobagana nabo okutuusa lwe yabakutte n’ebatikka ku kabangali yaayo.
Olwo poliisi yabadde emaze okufuna amawulire okuva ku kakiiko k’ekyalo nga bwe waliwo ababbi b’ente, n’efuna mmotoka za buyonjo mwe yatambulidde, ekyabayambye okufuna abavubuka bano.
Abaakwatiddwa poliisi yabakazizza wa bannaabwe abalala gye bali, kwe kutegeeza nga bwe baliko ekifo webali n’ente ze baabadde bagenda okuguza omusuubuzi Emmanuel Lubuuka ng’akolera mu katale ka Kaleerwe mu Kampala. Lubuuka yategeezezza Bukedde nti baamuzigiridde ente 10, kyokka n’abeekengera n’atemya ku kakiiko k’ekyalo, nako akaatemezza ku poliisi n’esitukiramu. Ente ezaabadde zibbiddwa kwabaddeko eza Yudaya Najjuma ne Godfrey Muyonga. Bagguddewo omusango gw’okubba ente ku fayiro nnamba SD REF 45/06/03/2025.