POLIISI y'e Luweero etannoonyereza ku kyavuddeko omuliro okukwata mmotoka y'amafuta ku ssundiro erimu e Luweero.
Bino byagudde ku ssundiro ly'amafuta erya Matson Fuel station ku kyalo Lusenke mu kibuga Wobulenzi mu Luweero mmotoka y'amafuta ekika kya canter Elf UA042CP, bwe yabadde egaba amafuta ku pump.

Mmotoka eyavuddeko omuliro okukwata
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti ddereeva wa canter ye yalabye ng'etandise okwaka n'agivuga okugijja ku pump n'agyolekeza mu lusaalu ku kyalo Kigulu okusobola okutaasa abantu abaabadde mu kifo kino n'ebintu byabwe bireme kusaanyizibwawo kyokka yagibbiseemu nga tannatuuka mu lusaalu olw'omuliro okwongera okwaka.
Poliisi ezikiza omuliro yayitiddwa n'ezikiza omuliro era mmotoka eyayokeddwa n'egyolekeza awakuumirwa ebidduka ebifunye ebizibu ku poliisi e Wobulenzi.