Amawulire

America etuusizza emmundu empya mu ddwa

AMERICA etuusizza emmundu empya mu ddwaaniro n’etandika olutalo ekitundu ekyokubiri, Pulezidenti Donald Trump mw’alabulidde nti;

Abajaasi ba America nga bateekateeka ebyokulwanyisa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

TEHRAN, Iran
AMERICA etuusizza emmundu empya mu ddwaaniro n’etandika olutalo ekitundu ekyokubiri, Pulezidenti Donald Trump mw’alabulidde nti;
Waliwo abanene mu Iran abakyakola emputtu abeetaaga okukolako wadde mu kusooka tetwalowooza nti beetaaga okuggyawo.
TRUMP YEEWEREDDE AYATOLLAH WA IRAN OMUPYA
Pulezidenti Trump okutuuka okulabula abalala ab’okukolako mu lutalo lwa Iran, yatandikidde ku Ayatollah omupya, Mojtaba Khamenei, gwe yayogeddeko nti, ennaku ze ku nsi ziyinza okuba entono.
Trump yagambye nti, ‘Iran’s next leader would not last long without the approval of the United States.’
Ebyo bitegeeza nti, okuggyako nga America ekkiririzza mu mukulembeze Iran gw’eronda, ennaku z’asigazza ziba ntono. "Alina okuba nga America emukkirizza nti ye mutuufu eyalondeddwa," Trump bwe yategeezezza bannamawulire ba ABC News.
Kino w’akyogeredde nga wayise ennaku ntono ng’amaze okugamba nti ajja kwenyigira butereevu mu kusalawo omukulembeze wa Iran ew’omu maaso.
Trump abadde n’obuzibu bw’omukambwe wa Iran ow’oku ntikko, Ayatollah Ali Khamenei eyattiddwa ku Lwomukaaga luli ng’agamba nti, ye yali alowooleza mu kuwagira obutujju mu nsi yonna, ne mu byokuweesa nukiriya ne mizayiro za Ballistic ez’amaanyi ng’eby'okuteesa si by’aliko.
Nga kuno kw’agatta n’okutirimbula bannansi abeekubira enduulu ku kulinnyirira eddembe ly’obuntu, n’ebyenfuna ebigootaanye.
Okwogera ebyo nga Trump amaze n’okusindika mizayiro empya mu ddwaaniro ezigenda okukolera ku nnyonyi ekika kya B-52 Long Range Strategic Bombernga zino nazo zaatuuse dda muddwaaniro.
EBYAFAAYO BYA AYATOLLAH OMUPYA
Amawulire ga Tasnim News Agency mu Iran gagamba nti, Ayatollah omupya Mojtaba Khamenei, yatandise dda emirimu mu bwerinde obw’amaanyi. Oyo ye mutabani wa Ayatollah eyattiddwa.
Ono ali ku bwerende bwa kunoonyezebwa attibwe nga kitaawe kubanga kigambibwa nti naye obukambwe bumuli nga bwa kitaawe eby’okuteesa tebimwanguyira amanyi bya mmundu.
Abamumanyi bagamba nti kitaawe yamubeeza nnyo ku lusegere lwe nga buli ky’akola omutabani akiraba.
Nti n’okulondebwa olukiiko lwa Assembly of Experts, baamaze kukakasa nti kumpi y’oyo Ayatollah eyattiddwa gw’ali abasongeddeko.
Ono era, alina obuganzi mu ggye lya Iran erya Iranian Revolutionary Guard Corps (IRGC).
Ekyo kyayanguyirizza abalonzi kubanga eggye eryo kati kwe bayimiridde mu by’olutalo wadde nga linafuyiziddwa nnyo ennumba ezirikolebwako amagye ga America n’aga Yisirayiri.
Kyokka alinamu okuwakanyizibwa okuva mu bantu ba wansi nga bagamba nti mukambwe kumpi nga kitaawe, ekintu ekyabatama ne basaba akyuseemu ku ekyo bw’anaaba ayagala okuwanAbajaasi