Amawulire

Omujulizi gwe baleese okulumiriza Nkerettanyi ne banne alemereddwa okumatiza kkooti

OMUJULIZI gwe baaleese okulumiriza omubaka omulonde owa Kalungu East, Yusuf Nkerettanyi Kiruluuta ne banne alemereddwa okumazita kkooti ku bujulizi.

Omujulizi gwe baleese okulumiriza Nkerettanyi ne banne alemereddwa okumatiza kkooti
By: Harriet Nakalema, Journalists @New Vision

OMUJULIZI gwe baaleese okulumiriza omubaka omulonde owa Kalungu East, Yusuf Nkerettanyi Kiruluuta ne banne alemereddwa okumazita kkooti ku bujulizi.

 

Nkerettanyi ne banne bavunaanibwa omusango gw’okubba kkateni za buwumbi 3 n’omusobyo.

 

Denis Amiria 39, nga ye mujulizi owookutaano yaleeteddwa oludda oluwaabi okukakasa kkooti nti, ddala abawawaabirwa baalabikira mu katambi nga babba kkateni.

 

Amiria yabadde alina okuwa obukakafu nti, ddala yalaba akatambi akaamulagibwa omuwaabi mu musango guno, Hajji Sulaiman Lwabuuka Kasule.

 

Ono yategeezezza kkooti nti, buli lwe yagezangako okussaako akatambi kazannye nga tekakola ekyamuleetera okulowooza nti, waliwo omuntu eyasiimuula obutambi buno n’ekigendererwa ky’okubuza obujulizi.

 

Kino kyamuwaliriza okubuuza Lwabuuka oba nga ye yali yaggyeeko obutambi kuba w’alabira ebiri ku kkamera enkessi, biri mu kisenge kye ate nga n’abaana baali tebasobola kuba nga bagituukako.

 

Oluvannyuma lwa kkamera okuddako, obumu ku butambi obwasangibwako tewali walabikira bantu bano era kino kyawalirizza Nkerettanyi okumusoya kajjogijjogi w’ebibuuzo oba nga ddala mu bye yazuula alina w’alabikira n’ategeeza nti, nedda.

 

Yazzeemu n’amubuuza oba nga yamulabako n’ebimu ku bintu ebigambibwa okubbibwa nga y’abirina n’amutegeeza nga bw’atalina we yamulabirako.

 

Nkerettanyi wamu ne Hamza Mugumya 33, Ivan Zziwa 28, ne John Tamale 27, bavunaanibwa okufuna kkateni enzibe nga zibalirirwamu obuwumbi 3 n’omusobyo.
Guddamu nga March 27, 2026.

Tags:
Nkerettanyi
Kkooti
Mujulizi
Kulumiriza
Kuleeta