Bya DICKSON KULUMBA
OBWAKABAKA bwa Buganda bugemye abantu obulwadde bwa Ssenyiga Kkolona ng'Obuganda bwetegekera okukuza olunaku lwa Bulungibwansi ne gavumenti ez'ebitundu olunaku lw'enkya ng'emikolo emikulu gyakubeera mu Lubiri e Mmengo.

No 2(7)
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Polof Kaawaase Kigongo asinzidde ku mukolo guno ogubadde e Bulange Mmengo enkya ya Leero n'ategeeza abantu nti abatayagala kugemwa,balabe ba banaabwe.

No 8(2)
Abantu ab'enjawulo boogedde ku nteekateeka eno ey'okugema ekoleddwa olunaku lwa Leero nga yenyigiddwamu n'eddwaliro ly'e Mengo.
Ate Olubiri lwa Kabaka e Mmengo awagenda okubeera emikolo gya Bulungibwansi luli mu kuyoyootebwa abantu ab'enjawulo abali mu bibiina nga Seven Hills ne Baganda Nkerettanyi nga nabo boogedde ku Bulungibwansi Ono gwebetabyemu.