Amawulire

Enteekateeka za KCCA zisattizza aba bbooda!

ABA bodaboda bakyatabuddwa enteekateeka za KCCA ez’okugoba bodaboda ezitalina siteegi mu kibuga, nga bagamba nti enteekateeka eno terambuluddwa bulungi.

Enteekateeka za KCCA zisattizza aba bbooda!
By: Lawrence Kizito, Journalists @New Vision

ABA bodaboda bakyatabuddwa enteekateeka za KCCA ez’okugoba bodaboda ezitalina siteegi mu kibuga, nga bagamba nti enteekateeka eno terambuluddwa bulungi.

 

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa kkampuni ya Safe Boda, ekozesa yintanenti okunoonya abasaabaze ne babayunga ku bavuzi ba bodaboda, kyalaze nti bo tebamanyi we bagenda kusigala mu nteekateeka eno, era balina ebibuuzo bingi ebitaliiko addamu, wadde nga bagezezzaako okutuukirira abakulu mu KCCA.

 

Baagala okutangaazibwa ku bigambibwa nti, bodaboda tezigenda kuddamu kuyingira kibuga, kyokka ng’abasaabaze bo bazirinnya nga baagala zibatuuse mu kibuga wakati. Beebuuza nti, abasaabaze bano bwe banaabakomya mu kkubo, ani anaabongerayo gye balina okugenda.

 

Era beebuuza enteekateeka egobererwa mu kufuna siteegi ezikakasiddwa KCCA, kubanga KCCA teyalambika ssente mmeka ze balina okusasula, ani azikwata, era siteegi mmeka eziriwo ezitannajjula?

 

Bo abakozesa yintanenti okufuna abasaabaze, beebuuza wa gye bagenda okukolera n’okuddukira, bwe balekebwa emabega mu nteekateeka y’okuwandiisa siteegi ate ng’atalina siteegi takkirizibwa kuvuga.

 

Mu ngeri y’emu, beebuuza nti omusaabaze abadde asinziira awaka n’atumya bodaboda, ng’akozesa essimu ye, kati agenda kukola atya, bwe kiba nga bo abavuga boda ez’ekika kino balekeddwa emabega mu nteekateeka eno?

 

 ABAKULIRA ABA BODABODA BATANGAAZIZZA
Ssentebe w’abavuzi ba bodaboda mu ggwanga, Frank Mawejje yagambye nti, baasalawo okukolagana ne KCCA batereeze omulimu gwa bodaboda, era mu mbeera eno, aba Safe Boda bateekwa okugondera amateeka ga Gavumenti n’enkola zaayo.

 

Ekizibu kyabwe Mawejje yagambye nti, kyava ku kuba nga KCCA yagaana okubawa siteegi ezaabwe bokka nga bwe baali baagala.

 

Kino Mawejje yagambye nti, tekisoboka kubanga aba Safe Boda bokka si be bavuga bodaboda, Gavumenti eryoke ebawe siteegi ezaabwe. N’agamba nti, buli wa Safe Boda alina eddembe okwewandiisa n’afuna siteegi era teri amukugira, kyokka nsalessale bw’anaggwaako nga tebanneewandiisa, embeera ejja kubakaluubirira nnyo.

 

Ku kya ani awandiisa aba bodaboda ku siteegi, Mawejje yagambye nti, abakulembeze ba bodaboda mu bitundu bamanyi eky’okukola, ate ssente ze basasula zisinziira ku ani nnannyini siteegi gye mukolerako, ng’ono abavuzi abali ku siteegi gwe balina okuteesa naye ne bakkaanya.

 

Ku ky’okugaana bodaboda okuyingira ekibuga, Mawejje yabagumizza nti, kino ekiteeso kyaliwoko, nga KCCA eyagala okukireeta, kyokka bakkaanyizza nabo, era bodaboda zonna ezirina abasaabaze zigenda kukkirizibwa okuleeta abasaabaze mu kibuga.

 

 Wabula olumutuusa, tokkirizibwa kwetooloola mu kibuga ng’onoonya basaabaze, olina kuddayo gy’ova. Kye baagala okuggyawo, ze bodaboda ezibadde zireereeta mu kibuga nga n’ababbi bakozesa omukisa guno okulondoola abalina ssente ne babateega.

 

Omwogezi wa KCCA, Daniel Muhumuza Nuweabine, yagambye nti, mu nnaku ntono akulira KCCA, Sharifah Buzeki agenda kunnyonnyola eggwanga obujjuvu bw’ensonga eno, era n’asaba aba bodaboda okulinda okulung’amizibwa kwe.

Tags:
Amawulire
KCCA
Nteekateeka
Bbooda
Kusattira