Amawulire

Bataddewo obukadde 10 eri oyo anaaleeta amawulire ku muserikale eyatta abantu 4!

Omuduumizi w'ekitongole ky'amakomera mu ggwanga, Dr. Johnson Byabashaija, ataddewo obukadde 10 eri oyo anaabawa amawulire agaakwatagana ku muserikale w'ekitongole kino, agambibwa okukuba abantu baana amasasi agaabatta e Kiboga

Bataddewo obukadde 10 eri oyo anaaleeta amawulire ku muserikale eyatta abantu 4!
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

Omuduumizi w'ekitongole ky'amakomera mu ggwanga, Dr. Johnson Byabashaija, ataddewo obukadde 10 eri oyo anaabawa amawulire agaakwatagana ku muserikale w'ekitongole kino, agambibwa okukuba abantu baana amasasi agaabatta e Kiboga.

 

Ettemu lino, lyaliwo wiiki nga bbiri eziyise e Kiboga, omuserikale nnamba 13544 Moses Anguyo, gy'agambibwa okukubira amasasi amyuka mukama we, n'amudirira, mukama we n'omwana waabwe n'abatta.

 

Yasuulawo emmundu n'ebyambalo n'abulawo era ng'okuva olwo, bamunoonya. Omwogezi w'ekitongole ky'amakomera mu ggwanga, Frank Baine, agambye nti bataddewo ekirabo kya bukadde 10 eri oyo abeera amulabye nga bategeeza, aboobuyinza.

Tags:
Bukadde
Dr. Johnson Byabashaija
amawulire
Kiboga