Amawulire

Gwebaleese okulumiriza Omubaka Nkerettanyi okubba kkateni ez'obuwumbi obusatu alemereddwa  okumatiza kkooti

GWEBAALEESE okulumiriza omubaka omulonde owa Kalungu East Yusuf Nkerettanyi Kiruluuta n’ebanne ku musango ogugambibwa nti babba katteni za buwumbi 3 n’omusobyo alemereddwa okumatiza kkooti ku bujulizi bwa kamera.    

Nkerettanyi ng'aline banne mu kkooti
By: Harriet Nakalema, Journalists @New Vision

GWEBAALEESE okulumiriza omubaka omulonde owa Kalungu East Yusuf Nkerettanyi Kiruluuta n’ebanne ku musango ogugambibwa nti babba katteni za buwumbi 3 n’omusobyo alemereddwa okumatiza kkooti ku bujulizi bwa kamera.

Denis Amiria  39 nga yemujulizi ow'okutaano aleeteddwa okulumiriza bano alemereddwa okumatiza kkooti nti ddala bano balabikira mu katambi nga babba kateni n'ategeeza nti Haji Sulaiman Lwabuuka Kasule bweyamuyita okukebera obutambi obukwatibwa ku kkamera zeyateekayo wabula talina kyeyasaangako.

Nkerettanyi ng'ali mu kkooti

Nkerettanyi ng'ali mu kkooti

Ono ategeezezza kkooti nti buli lweyagezaangako okubaako kaatekako kazannye nga tekakola ekyamuletera okulowoza nti waliwo omuntu eyasiimuula obutambi buno nekigendererwa kuba tekisoboka kuba nga amasannyalaze gageenda omuddiringanwa emirundi egisukka mu 4.

Era kino kyamuwaliriza okubuuza Lwabuuka oba nga yeyali yaggyeko obutambi kuba walabira ebiri ku kkamera enkessi biri mu kisenge kye ate nga nabaana baali tebasobola kuba nga bagituukako.

Oluvannyuma lwa kkamera okuddako obumu ku butaambi obwasangibwako tewali walabikira bantu bano era kino kiwalirizza Nkerettanyi okumusoya kajogijogi webibuuzo oba nga ddala mu byeyazuula alina walabikira nategeeza nti Nedda.

Nketettanyi ne banne nga bali mu kkooti

Nketettanyi ne banne nga bali mu kkooti

Yazeemu namubuuza ddala oba nga yamulabako nebimu ku bintu ebigambibwa okubbibwa nga yabirina nametegeeza nga bwatalina wadde weyamulabirako.

Kigambibwa nti Nkeretanyi, Hamza Mugumya 33 omukozi w’omuduuka omutuuze wa Bulwadda Cell mu disitulikiti ye Wakiso,omutuuze we Mutundwe Kirinyangabo  Bunamwaya mu divizoni ye Makindye Ssabagabo ,Ivan Zziwa 28 omutuuze wa Namugongo Mbalwa mu disitulikiti Wakiso ne John Tamale 27 omutuuze we Kiwanda Jomayi e Seeta mu disitulikiti ye Mukono bebavunaanibwa omusango gwokufuna kateni enzibe nga zibalirirwamu obuwumbi 3 n’omusobyo.