Amawulire

Minisita asiimye Pulezidenti olw’okusitula abakyala

MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka Dr. Sam Mayanja asiimye Pulezidenti Museveni olw’okulwanirira abakazi ne bafuna obwannannyini ku ttaka.

Minisita Mayanja
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka Dr. Sam Mayanja asiimye Pulezidenti Museveni olw’okulwanirira abakazi ne bafuna obwannannyini ku ttaka.
Mayanja yasinzidde ku pulogulaamu ya Mugobansonga Special ebeera ku Bukedde FM buli lwa Ssande ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi ekubirizibwa Terah Kaaya.
Yategeezezza nti Pulezidenti asitudde abakyala ng’abawa ebifo eby’amaanyi kuba ajjukirwa nga ye yasooka ku lukalu lwa Afrika okulonda omumyuka wa Pulezidenti nga mukazi Dr. Specioza Wandera Kazibwe.
Mu kiseera kino omumyuka wa Pulezidenti mukyala, Sipiika wa Palamenti mukyala, minisitule y’Ebyettaka ekulemberwa mukyala n’abalala bangi.
Mu bubaka Pulezidenti bwe yaweerezza mu kukuza olunaku lw’abakyala e Kololo yagambye nti abakyala abaweereddwa obuvunaanyizibwa babukoze bulungi era abeenyumirizaamu. Mu buwangwa bwa Buganda, waliwo Bannaalinnya abakazi abaalinanga amaanyi nga baweebwa n’ettaka era nga be bokka abasobola okugamba ku Kabaka ng’abadde asobezza. Pulezidenti yakwata ettaka lya Bannaalinnya n’alibaddiza nga lya mailo nga lino lyali lyabaggyibwako ku myaka gy’e 60.
Wadde ng’abakyala basituddwa, omukyala wa wansi akyalina ebimusoomooza bingi nga okugobwa ku ttaka. Bannamwandu bangi basengulwa ku ttaka awatali ayamba ng’olumu babeera bakulembeze ba LC abeekobaana n’abasajja nga bakaddiye ne babateesa omukono ku biwandiiko bye batategeera.
Omusajja olufa nga bavaayo ‘n’obuwandiiko’ nga bagamba yaleka abaguzizza era ekiddirira namwandu kugobaganyizibwa. Mu kiseera kino bw’ogenda mu byalo, bamaama bangi abalina abaana ng’abasajja baabaddukako. Edda abasajja be baakaabanga naye kati abakyala b’osanga bakaaba ennaku y’amaka.
Mayanja yagambye nti Pulezidenti ayongedde okutereeza embeera z’abakyala ng’ayitamu kutereeza amateeka agabawa obwannannyini ku ttaka obwenkomeredde.
LC TEZIKOZE KIMALA KUGONJOOLA NSONGA ZA TTAKA
Minisita yagambye nti okunoonyereza kw’akoze, abakulembeze ba LC babadde basaale ku kugobaganya abantu ku ttaka nga bakolagana n’abagagga ababasengula.
Olw’okuba be babeera ku kyalo, bamanya omukadde, omugenyi, omutamiivu n’omuyaaye era amawulire ge bawa nga bagula ettaka gasobola okutomeza omuntu yenna. Olw’okuba L.C baaziwa obuyinza okuwulira ensonga z’ettaka, bakozesezza omukisa guno okudibaga ensonga z’ettaka.
Ekyewuunyisa wadde nga Pulezidenti yalagira obutasengula muntu yenna ku ttaka okuggyako ng’akakiiko k’ebyokwerinda aka disitulikiti akakubirizibwa RDC nga kamaze okukuyisa n’okwebuuza ku minisita w’Ebyettaka, era abantu bakyasengulwa.
Mu mbeera eno minisita yagambye agenda kuddayo ku ttaka ly’e Kakunyu e Wakiso akakaseng’abantu abaagobwa Dr. Apollo Kaggwa ku ttaka nga tebasengulwa. Ku ttaka lino, yaakagendayo emirundi esatu ng’ali ne RDC Justine Mbabazi era ng’olumu yalagira Dr. Kaggwa akwatibwe naye n’atatuuka wadde ku poliisi.
Ensonga yaziteekamu akakiiko akakola ku kulwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’Obwa-pulezidenti akaakola okunoo-nyereza ne kakizuula nti ku bantu 13 abaali ku ttaka lino, 11 baliriko mu butuufu era ne babalagira okudda ku ttaka lyabwe.
“Njagala ng’ende mbuuze, kiki ekigaanyi abantu okweyagalira ku bibanja byabwe. TwakkiDenis
Zziwa Busulwa: Mu bifo ebyo abamu twajjawo nga nsiko, minisita yeetaaga kujja alabe abantu bano kuba mu bifo ebyo temuli bamenyi bw’amateeka.
Peter Kemba;Tusaba minisitule ekwatagane naffe kuba tuli beetowaze baleme kutusindiikiriza twogerezeganye kuba abakolera wano tetumanyi wa kubazza.
Mark Jjagwe: Mmotoka ezimu eziri ku kkubo teziba zaffe. Abantu bangi bakozesa ekibangirizi kino, kwe bayimiridde. Minisita ajje tumunnyonnyole.
Joseph Kisasazi; Tusaba tusisinkane minisita awulire ku bulumi bwaffe. Wano si waffe naye we tuggya ekyokulya, enkolagana yaffe ne minisitule nsuubira tujja kukkaanya.Kye bagamba
riziganyizza ne RDC, tuddeyo nga March 18, 2026 nkakase abantu abalina amaanyi okusinga aga Pulezidenti kuba ensonga zino ze zimu lwaki Ssaabalwanyi Museveni yannonda mu kifo kye ndimu,” Minisita Mayanja bwe yagambye