Amawulire

NSSF ewadde nsalesale ku bakozesa abakyagaanyi okusasulira abakozi baabwe ssente z'eekittavu

EKITONGOLE ekivunanyizibwa okutereka ekittavu ky'ensimbi z'abakoz ba Gv't ekya NSSF kirangiridde nga bwekisonyiye abakozesa bonna abaali baagaana okusasulira abakozi baabwe ensimbi za NSSF era ne balabulibwa okwetereeza. 

Gerld Paul Kasaato ne banne oluvannyuma lw'okwogera mu lukung'aana lw'abannamawulire
By: Procopios Lumu, Journalists @New Vision

EKITONGOLE ekivunanyizibwa okutereka ekittavu ky'ensimbi z'abakoz ba Gv't ekya NSSF kirangiridde nga bwekisonyiye abakozesa bonna abaali baagaana okusasulira abakozi baabwe ensimbi za NSSF era ne balabulibwa okwetereeza.

 Bano bawereeddwa emyezi ebiri era nga  NSSF esuubira  abakozesa  abasoba mu mitwalo ebiri ssaako abakozi abali eyo mu mitwalo ekkumi bebasuubirwa  okuganyulwa ssaako okukungaanyiza NSSF  ensimbi  obuwumbi  obusoba mu 30

Bino byogeddwa amyuka dayirekita w’ekitta vvu ky’abakozi ki NSSF Gerld Paul Kasaato mu lukungaana lw’abannamawulire olubadde ku workers house wano mu kibuga Kampala.

Mu kwogera kwe Kasaato ategeezezza nti kino kigendereddwamu eky’okuwa abakozesa omwagaanya okwetereeza  naddala nga  basasulira abakozi baabwe ensimbi zino saako okuwa okubawa emiganyulo gyaabwe ng’abakozi.

Kasaato ategezezza nti bakizudde ng’abakozesa bangi abakozi baabwe tebabasasulira nsimbi zino ssaako okubawa obusiimo bwe balina okufuna.

Wabula bw’abuuziddwa oba nga  bakoze ekimala okulaba nga basomesa abantu ebirungi ebiri mu kutereka ensimbi, ono ategeezezza nti kituufu bakizudde ng’abantu bangi tebamanyi mugaso gwa kutereka kyokka nategeeza nti bakola buli kisoboka okulaba nga basomesa abantu.