Amawulire

Bannamateeka bavumiridde engeri munnamateeka Muwena gyeyagobeddwa mu nnyumba

EKIBIINA ekigatta Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society kiwandiikidde omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga  Abasi Byakagaba atangaaze ku nkola eyayitibwamu nga bamenya ofiisi za Munnamateeka Fred Muwema eza Muwema and Co. Advocates n’ebyagobererwa nga kino kikolebwa. 

Munnamateeka Asiimwe ng'annyonnyola
By: Emmanuel Ssekaggo, Journalists @New Vision

EKIBIINA ekigatta Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society kiwandiikidde omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga  Abasi Byakagaba atangaaze ku nkola eyayitibwamu nga bamenya ofiisi za Munnamateeka Fred Muwema eza Muwema and Co. Advocates n’ebyagobererwa nga kino kikolebwa.

Bino byogeddwa amyuuka Pulezidenti wa Uganda Law Society Antony Asiimwe mu lukungaana lwa Bannamawulire lw’atuuziza ku ofiisi zabwe mu Acacia Avenue mu Kampala.

Munnamateeka Asiimwe ng'annyonnyola

Munnamateeka Asiimwe ng'annyonnyola

Asiimwe agambye nti  tebawakanya nsala ya kkooti mu musango guno kyokka bagamba nti bwebaali bamenya ofiisi za Muwema waliwo enkola ezitaagobererwa bulungi nga kisuubirwa nti waliwo  n’ebiwandiiko bya Bannayuganda bingi byebaali batereseza Muwema nga Munnamateeka wabwe omuli ebyapa, ebiraamo, obujulizi mu misango egy’enjawulo n’ebirala bingi ebyayononebwa.

Asiimwe agambye nti ne wankubadde Muwema omusango gwali gumusinze, ebiwandiiko n’eby’obugagga by’abantu ebyali mu ofiisi ye ng’abikuuma ku lwa Bannayuganda b’akolera nga Munnamateeka wabwe  byali birina okusooka okukuumibwa kubanga bo tebaalina musango.

Bino okutuukawo kyaddirira omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Patricia Mutesi  okusingiza Muwema omusango gw’okulemererwa okusasula ssente z’obupangisa ku ofiisi ze ezaali  ku Prime Office Space  ku Windsor Crescent Road e Kololo era n’alagirwa n’okuliwa ssente eziwera  ate n’okugobwa mu kizimbe ekyalimu ofiisi ze.

Oluvannyuma lw’ensala eno eyafuluma nga Febuary 20 omwaka guno, abaali bavunaana Muwema aba Downtown Investments Ltd baasalawo okulumba ofiisi eno era nga Match 6 waliwo abantu abaagenda ku ofiisi zono nebagimya.

Kati ekibiina kya Bannamateeka kyagala poliisi ebuulire eggwanga omuntu avunaanyizibwa ku byonna ebyakolebwa ate n’awakuumirwa bintu ebyali mu ofiisi ya Muwema  olwo nga Munnayuganda yenna abyetaaga asobola okubikozesa.