ABATUUZE ku kyalo Kikooza mu munisipaali y'e Mukono balabye katemba atali musasulire, omuwala bw’aloopye nnyina ku poliisi olw’okwezza bbebi we n’amugabira muganzi we!
Omwana akaayanirwa ye Latif Lule ow’emyezi ebiri. Bridget Nalweyiso 22, yagenze ku poliisi n’aloopa nnyina Barbara Babirye 45 nti yawambye bbebi we n’atuuka n’okumugabira muganzi we gwe yaakafuna ayitibwa Ashraf Kasirye.
Nalweyiso okutuuka okuva mu mbeera kiddiridde bba okumusaba omwana we n’agattako nti oba agaanye okumuggya ewa nnyazaala we amuleete awaka, ssinga afuna obuzibu (omwana) tabaako ky’anyega.
Nalweyiso nga tannagenda ku poliisi yasoose wa nnyina n’amusaba bbebi we, wabula n’akalambira nti si y’amuzaala era n’amuyonsa okukakasa nti omwana wuwe. Kino kyaggye Nalweyiso mu mbeera n’agenda ku poliisi e Wantoni abazze ne batwala Babirye ne bbebi.
Wabula Babirye yalabye ebintu biwanvuye kwe kukkiriza nti omwana wa muwala we. Bombi bongeddwaayo ku poliisi e Mukono.