Omukadde eyeeyambulira abaana be yeetondedde mukazi we olw’okwekola ebintu eby’engeri eyo ebiswaza amaka.
Maama w’abaana agamba nti bba bwe bamaze emyaka 43 mu bufumbo yafuuka ekyeneena mu baana n'abazzukulu n'atuuka n'okubeeyambulira n'ayolesa obwereere bwe.

Achola Ng'annyonnyola.
Omukazi agamba nti yaswala n'agwekerera kubanga ne gye buli kati abazzukulu abaana bakyanyumya ku bwereere bwa jjajjaabwe bwe baalaba.
Achola Kamiyati 60, ye yaloopye bba Ddumba Zubairi 86, ewa Collins Kafeero ow'amaka, abaana n'eddembe ly'obuntu nga agamba nti enneeyisa ye tekyali ya buntubulamu.
Bano batuuze ku kyalo Kyayaye -Magolo mu ggombolola y'e Busaana mu disitulikiti y'e Kayunga.
Achola agambye nti yagenda okudda awaka nga muwala we ali mu maziga olwa kitaawe okumweyambulira n'asigala bute kyokka nga bo abazzukulu abato bali mu nseko batenda bye balabye ku jjajja mwami ng’aggyeemu engoye.
Mzee Ddumba agambye nti obusungu bwamukwata olw'omwana ono omuwala okuva mu bufumbo bwe ne yeesogga ekisenge kye (ekya kitaawe ) n'atandika okukyera.
Achola agambye nti bwe yanenya ku mzee Ddumba ensonyi n'azifuula obusungu n'asibamu buli kintu kye engugu n'agikuba ewa mukyala muto.
Achola obwedda azikubamu makiikakiika nga buli lw'afumiitiriza engeri bba gye yeewebuudde ng’amaziga gamuyunguka.
Kati mzee Ddumba asinziira eyo n'asindika abantu bapangise ekibanja nga kw'atadde n'okumwewerera okumugulira abatemu bamutte.
Collins Kafeero alabudde mzee akomye okwekola obusolosolo kubanga bimuwewula n'okulaga abazzukulu ekifaananyi ekibi. Alagidde omukadde akomye eby'okupangisa nga tebakkaanyizza ne mukazi we.