Amawulire

Amerika ne Canada zisindise amagye mu Greenland okulemesa aga Bulaaya

ENDOOLIITO z’Abazungu ku bya Pulezidenti Donald Trump okuwamba ekizinga kya Greenland zongedde okulinnya enkandaggo, Amerika bw’esindise amagye okwegezaamu okufaanana ng’amawanga ga Bulaaya nago bwe gaasindiseeyo amagye okwetegekera olutalo.

mu ggye lya Amerika ali bulindaala mu Greenland.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ENDOOLIITO z’Abazungu ku bya Pulezidenti Donald Trump okuwamba ekizinga kya Greenland zongedde okulinnya enkandaggo, Amerika bw’esindise amagye okwegezaamu okufaanana ng’amawanga ga Bulaaya nago bwe gaasindiseeyo amagye okwetegekera olutalo.
Amawulire ga CTV news gaalaze ekitongole kya North American Aerospace Defence Command (Norad), ekigatta eby’eggye ly’omu bbanga mu Amerika ne Canada, nga kisindika ennyonyi ennwanyi ku kitebe ky’eggye lya Amerika mu Greenland.
Ebyokulwanyisa ebigenda okusindikibwa ku kitebe ky’eggye lya America ekya Pituffik Space Base, ekikola ku nsonga ez’enjawulo naddalan eby’obwengula n’eggye ery’omu
bbanga, kigambibwa nti bibaddenga bitera okutwalibwayo amawanga ago ne geegezaamu.
Ekitamanyiddwa ku luno, kye ky’okugenda okwegezaamu ng’ate mu kadde ke kamu n’amawanga ga Bulaaya okuli Germany, Bungereza, Bufaransa n’amalala agawakanya Amerika okwezza ekizinga kya Greenland, gaakatwalayo amagye okulemesa Amerika.
Ebyo nga biri awo, Amerika era etadde mu tageti amagye ga Bulaaya, ebitebe byago, emizinga, mizayiro, ebyuma ebiketta ennyonyi n’ebirala byonna amawanga ago bye gaayiye mu Greenland okulemesa Trump okwezza ekizinga ekyo.
Bino we bijjidde nga Trump yataddewo nsalessale wa nga June 1, 2026, ekizinga ekyo okuba nga kyegasse ku Amerika n’awera okukola buli kimu okukituukiriza. Amawulire ga Times of India, gaasose kulaga magye ga Bulaaya nga gasimba emmundu ku kizinga ekyo ekiri ku lukalu lwa Arctic, nga we gasimba emmundu we gasimba ne bendera
y’eggwanga lya Greenland mu kulaga okussa ekimu.
Bendera eno ey’ebimyufu n’ebyeru yeefaanaanyirizaako eya Denmark ng’Obwakabaka bw’eggwanga eryo, bwe butwala ekizinga ekyo. Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump okwagala okugatta Greenland ku Amerika, yasangibwa eggwanga lye lirinayo amagye naye nga matonotono kati ekiteeso kya kwongerayo malala.
Okusinziira ku mukutu gwa Wikipedia, Amerika erina ‘Polar Orbiting
Geophysical Observatory (POGO)) of the Satellite Control Network.’ ng’ebyo bye byuma bya setirayiti ebiketta kumpi mu nsi wonna kyokka nga ku mulundi
guno amakanda bagasimbye mu Greenland. Ekyo kitegeeza nti, buli mawanga ga Bulaaya agaasindise amagye mu Greenland, wonna we baagasindise America eraba kye gakola,kye gazzaako n’yiiya ekiddako. Gye buvuddeko, Katikkiro wa Denmark yalabula nti, Amerika w’etwalira ekizinga ekyo, olutalo ku kukirwanira we lutandikira! N’awera nti, n’omukago gwa NATO ogugatta amawanga ga Bulaaya ne Amerika mu by’ekijaasi
nga bakol- era wamu okwekuuma, we gujja okukoma!