ABATUUZE ba Kaggo zooni e Mbuya baguddemu ekikangabwa omuliro ogutategeerekese kweguvudde bwegukutte amayumba agasulwamu negusanyizamu n’enkoko ezisukka mu 700.
Omuliro guno ogutandise ku ssaawa nga 12 nga busasaana gutandikidde ku kiyumba ky’enkoko nga weguvudde okubuna amayumba g’abatuuze era bagenze okugulaba nga gusasaanye nebatandika okulwanagana nagwo.

Ebimu ku bintu esaaniddewo mu muliro
Edith Mutinye om uku basoose okulaba omuliro guno ategezezza nti abadde afulumyeko wabweru kumakya n’awulira nga abantu badduka nga balekaanira waggulu era okwetegereza nga omuliro gwaka.
Batandise okukuba enduulu nga bwebazuukusa baliraanwa nabo abazze nebatandika okulwanagana nagwo.
Mutinye yasazeewo okukubira ab’emmotoka ezizikiriza omuliro kyokka eby’embi bagenze okujja nga tebasobola kutuuka waakutte muliro olw’obufunda bw’ekkubo.
Abatuuze basazeewo okulwanagana nagwo okutuusa lwebasinzizza amaanyi newankubadde nga amayumba g’abantu n’ebintu byabwe ebisinga bibadde bisirisse.
Zaid Ibrahim Seguya, abadde nannyini nkoko eziyidde ategezezza nti bateebereza nti omuliro guno gwandiba nga guvudde ku masannyalaze.

Abavubuka nga bali awakutte omuliro
Ategezezza nti bafiiriddwa enkoko ezisoba mu 700 n’embuzi 2 kw’ossa n’ebintu byomu nnyumba nga enkoko aziterese azitunde mu biseera bya Idi ne Easter kyokka nga alabidde awo nga omuliro guzimazeewo.
Alaze okwennyamira olw’ensimbi ezisoba mu bukadde 30 z’abadde asuubira okufunamu nga atunze enkoko asobole okusasula looni gyeyewola okutandika omulimu guno.
Asiimye nnyo abatuuze abewaddeyo okuzikiza omuliro guno okugutandgira okusasaana ennyo okukosa ekyalo.

Abaduukirize nga bazikiz omuliro
Sipiika wa w’Egombolola ye Nakawa ategezezza nga emmotoka ezizikiza omuliro bwezibadde situukidde mu budde kyokka nezibulwa ekkubo okutuuka ku muliro nga kino kivuddeko omuliro okusasaana.
Kyokka asabye abatuuze bulijjo okwewalanga okuzimba mu makubo kisobozesenga abaduukirize okutuukanga mu kifo ekiguddemu enjega mu budde