Mayanja alambuludde awava obulumi bwa Pulezidenti ku byettaka
Mar 11, 2025
MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka Dr. Sam Mayanja alaze obulumi Pulezidenti Museveni bw'alina ku ttaka n'ebintu by'azze akola okutaasa abantu abagobaganyizibwa ku bibanja n'aggumiza ekiragiro ku kukomya ebiragiro bya kkooti ebisengula abantu ku ttaka n'okulonda obukiiko bwa disitulikiti obulondoola ensonga z'ettaka.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka Dr. Sam Mayanja alaze obulumi Pulezidenti Museveni bw'alina ku ttaka n'ebintu by'azze akola okutaasa abantu abagobaganyizibwa ku bibanja n'aggumiza ekiragiro ku kukomya ebiragiro bya kkooti ebisengula abantu ku ttaka n'okulonda obukiiko bwa disitulikiti obulondoola ensonga z'ettaka.
Mayanja yabyogeredde ku pulogulaamu 'Mugobansonga Special’ ebeera ku Bukedde Fa
Ma buli Ssande, ku ssaawa 1:00 ey'akawungeezi.
Ekibuuzo: Obulumi bwa Pulezidenti Museveni ku nsonga ettaka buli ludda wa era akoze
ki okuva emabega? Minisita Mayanja: Obulimi bwa Pulezidenti ku ttaka gye buvudde, abamu balowooza nti atandise kati okulwana okugonjoola ensonga z'ettaka,
8 Bukedde Lwakubiri March 11, 2025 amawulire Minisita Mayanjanedda! Ekiwandiiko Kiryowa Kiwanuka kye yawandiika mu 2013 ng'asinziira ku Pulezidenti Museveni bye yayogera bwe yali mu maka ge e Rwakitura.
Yagamba nti abantu nga bagobeddwa ku bibanja byabwe baba baggyiddwaako ennyumba we babeera, ekyokulya, ebintu byabwe mwe bafuna ssente,
okusattulula ffamire, okucankalanya ebyenjigiriza n'agamba ntiolwo abantu bano bonna baba basindikiddwa eri Gavumenti ebalabirire. Museveni yalangirira
ebintu 8 era bye bino wammanga:
Yagamba nti Gavumenti yali eyimirizza okugoba abantu ku ttaka kwonna, nti n'abo bonna abeenyigira mu kugaba ebiwandiiko ebibagobako, baakutwalibwa
mu kkooti.
Yayongerako nti Gavumenti yaakuyambako okuzza abagobeddwa ku ttaka mu bibanja byabwe era n'asalawo okussaawo akakiiko akaaliko Aidah Nantaba (eyali
mu kifo kye ndimu kati) n'abalala nga; Rosemary Ssenninde, Mulinde Mukasa Kintu n'abakiikirira poliisi, amagye n'essiga eddamuzi n'abalagira bagende nga babuna
eggwanga gye basanga abantu abagobeddwa ku ttaka babazze mu bibanja byabwe, muwulira ensonga eyo? Kaakati yayongerako nti ssinga muntu afuna ekiwandiiko
ekisengula abantu mu mateeka, agoberere ebiragiro Ssaabalamuzi bye yali yayisa, era n'alagira ayonoonye ebintu by'omulala amuliyirire.
Ekirala nti tewali akkirizibwa kusenga ku ttaka lya Gavumenti nga ebibira, entobazzi n'ebirala era n'agamba nti Gavumenti ejja kufuna ssente esasule aba abatunda - ebyo yabikola mu myaka 10 egiyise, okwo kw'ogatta ekiwandiiko kye kye yafulumya nga February 28, 2022, ekyo nze ndowooza nti kyandibadde kiyimbibwa na buyimbibwa, kuba kikulu nnyo.
Yalagira Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja nti tewali muntu kugobwa ku kibanja kye okuggyako ng’akakiiko ka disitulikiti ak'ebyokwerinda akaliko RDC ne b'akola nabo bonna kw'ossa okwebuuza ku minisita w'ebyettaka. N'ayongerako nti bwe wabaawo agobeddwa ku ttaka, bammemba b'akakiiko ka disitulikiti bonna gujja kuba mutawaana gwabwe era bajja kunnyonnyola lwaki kibaddewo. Leero tewali kugoba muntu kwonna ku ttaka kukolebwa mu Uganda ng’akakiiko ka RDC ekatudde; ayita bammemba bonna ne basooka batuula ne beetegereza ekiragiro ekivudde mu kkooti ne
beetegereza ensonga, nga bwe bakiraba nti kirimu omulamwa, nga bakikwata nga bakiweereza eri Minisita w'Ebyettaka bw'amaliriza okwebuuza n'alyoka assaako
omukono.
Ekyennyamiza okuva ekiragiro ekyo lwe kyayita mu February, sinnalabayo kiwandiiko kituuse wa Mukama wange Naabakooba, ubanga ebigenda mu maaso mu
ofiisi ye mbimanyi.
Buli kibaawo akimbuulirako oba n'ayita olukiiko ne tutuulamu naye tekinnabaawo kyokka ekyewuunyisa nkyawulira abantu nga bagobwa ku ttaka n'essaawa ya leero!
Kati ntegeeza Munnayuganda yenna ali ku kibanja owawaabire ekintu ekyo ab'olukiiko lwa Disitulikiti bakuliyirire kubanga tebakoze kye yabalagidde. Omuntu yenna agobeddwa ku ttaka nga RDC tamuyambye addukire ewa Minisita w'Obwapulezidenti Milly Babirye Babalanda akulira ba RDC abo abagobe oba bannyonnyole. Era
oluusi abantu baddukira nnyo ewange era nze kye nkola nga mpandiikira Babalanda ng'akola ku muntu oyo
No Comment