KKAMPUNI ya Vision Group efulumya olupapula lwa Bukedde etongozza akatabo ka PASS PLE, omunaabeera ebibuuzo by’abayizi ba P7, akagenda okufuluma buli lwa Mmande n’Olwokuna. Kaakufulumiranga mu Bukedde era mu nteekateeka eno mulimu
n’okutandikawo ebibiina bya PASS PLE mu masomero, okusobozesa abayizi okukubaganyanga ebirowoozo ku bibuuzo bino, ebibateekateeka okukola PLE.
Akulira Vision Group, Don Wanyama yasinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku kitebe kya Vision Group eugogo, n’agamba nti emyaka PASS PLE gy’amaze ng’afuluma, yafuuka ssomero kuba abayizi bangi abayambiddwa okuyita ebigezo nga bakozesa akatabo kano, naddala abali mu masoso g’ebyalo.
Abasomesa abateekateeka ebibuuzo bino, Wanyama yagambye nti bava mu masomero
ag’amaanyi mu Kampala ne Wakiso, ekiwa omuyizi mu masomero gateesobola omukisa okugabana ku basomesa abalungi bye balina.
Era wajja kutegekebwawo ‘quiz’, abayizi okuva mu masomero ag’enjawulo bakung’aane basindane mu kwanukula ebibuuzo ng’abasomesa babalung’amya.
Willy Kataswa, akwanaganya essomo lya Social Studies mu Pass PLE, nga musomesa ku Greenhill Academy – Kibuli, yagambye nti ebibuuzo bye bategese omwaka
guno bya njawulo, kuba byakuteekateeka omuyizi ku nsoma empya eri mu siniya.
Biwa omuyizi omukisa okulowooza, okukubaganya ebirowoozo, n’okuyiiya, atuuke mu siniya ng’ebintu bimutambulira bulungi.
Yasabye abazadde n’amasomero okwekwata PASS PLE ow’olupapula lwa Bukedde bazimbe obulamu bw’abaana baabwe obw’omu maaso.
Peter Ssemanda, ow’essomo lya Ssaayansi ng’asomesa ku Mugwanya Preparatory School e Kabojja, yagambye nti ebibuuzo bino abayizi baabalekeddewo amabanga mwe bajjuza ansa zaabwe, ne batwalira omusomesa ’abagolola.
Yasabye abazadde okwenyigiramu bagulire abaana baabwe Bukedde, beegezeemu nga bukyali. Omukwanaganya wa PASS PLE mu Bukedde, Miriam Nambatya yasabye amasomero okukwatagana n’abazadde, bagulire abaana baabwe obutabo bwa PASS PLE, n’okutandikawo kiraabu mu masomero, abayizi mwe banaakubaganyizanga ebirowoozo. Omukung’aanya wa Bukedde, Michael Mukasa Ssebbowa, yagambye nti ansa za PASS PLE eza buli Mmande zaakufulumanga buli Lwakuna ate ez’Olwokuna zifulumenga ku Mmande.