Amata g’embuzi ze nnundira awafunda ngakolamu ebizigo
Mar 14, 2025
ABALIMI bongedde obuyiiya mu kulima awamu n’okulunda okusobola okugaziya ku nfuna yaabwe wamu n’okuwa abantu baabwe ekisinga nga babyongeddeko omutindo.

NewVision Reporter
@NewVision
ABALIMI bongedde obuyiiya mu kulima awamu n’okulunda okusobola okugaziya ku nfuna yaabwe wamu n’okuwa abantu baabwe ekisinga nga babyongeddeko omutindo.
Juliet Kanyesigye, mulunzi wa mbuzi ez’amata ku ffaamu ye eyitibwa Kanyes Dairy Farm esangibwa e Makindye-Luwafu, alaga bwe yatandika okulunda ne bw’atuuse okukulaakulanya bizinensi y’amata g’embuzi mw’akola sabbuuni, ebizigo n’ebintu ebirala. Annyonnyola nti:
ENTANDIKWA
Natandika okulunda embuzi mu 2018 mu kifo ekifunda ddala mu maka gange e Makindye -Luwafu nga hhenderedde kutunda mata gaazo.
Nnali mmaze ebbanga ddene nga nsoomoozebwa mu mbeera y’obulamu bwange olwa alaje, nga bwe mpunyiriza obuwoowo obw’enjawulo obw’obuwoowo bwe tugula, ebimuli ‘ebirala nga bimpisa bubi.
Nasisinkana omusawo munnansi wa Korea eyali akozesa eddagala ery’ekinnansi okujjanjaba abantu abaali batawaanyizibwa endwadde omuli siikoseero, alaje, akawuka ka siriimu, okukonziba mu baana n’ebirala, ng’ono ye yampa amagezi g’okunywa amata g’embuzi okutereera obulungi.
Olw’okuba amata g’embuzi galimu ebirungo nga, ekiriisa ekizimba omubiri, Vitamiini B, D ne E n’ebirala bingi ebiyamba omubiri n’okuguwa amaanyi okulwanyisa endwadde ezigulumba.
Bwe nneemanyiiza okunywa amata g’embuzi natereera okutuusa kati. Obulwadde bwa COVID-19 bwe yabalukawo emirimu ne gigootaana nga sikyayinza kutambuza mata gange kugatuusa ku bakasitoma abali mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, amata gano gaayonoonekanga.
Wano we nafunira ekirowoozo ky’okugakolamu ebintu eby’enjawulo okugeza; yogati, ebizigo, sabbuuni ebyali bisobola okuwangaala wakati w’emyaka ebiri kw’esatu nga tebyonoonese ne mbitunza abantu be nali nsobola okutuukirira.
Ku ffaamu yange nnundaebika by’embuzi bibiri (2) okuli saanen ne ‘Togennburg’ ze ngula wakati w’obukadde bubiri ne bubiri n’ekitundu ezimpa amata nga liita emu ya ey’amata gaazo ngitunda 9,000/-.
Ebika by’embuzi bino birina amata mangi ate nga ne bw’omala ebbanga ery’omwaka oba esatu nga togiwadde nsajja esigala ekuwa amata mayitirivu buli lunaku, era nkama liita 10 buli lunaku okuva mu mbuzi 15 ze nkama. Endala ezaakazaala tusooka ne tuzireka okuyonsa abaana baazo okumala emyezi ebiri olwo ne tutandika okuzikama.
Ntunda awamu n’okugula embuzi endala ku ffaamu yange, nga mu kiseera kino nnina embuzi 27 enkulu n’ento 10.
BYE YEENYUMIRIZA MU KULUNDA EMBUZI
l Obulamu bwe bwalongooka.
Kanyesigye agamba nti, nga tannayiga birungi biri mu mata gano yafunanga okusoomoozebwa kungi mu bulamu bwe wabula bwe yagayiga obulamu bwe bwatereera era newankubadde akuze mu myaka naye alabika bulungi.
l Akyusizza obulamu bw’abantu abalala. Agamba nti, asobodde okusomesa abantu abalala bangi ku bulunzi bw’embuzi n’obulungi obuli mu mata gano era bonna abakoze by’abasomesa obulamu bwabwe bulongoose mu by’ensimbi n’ebyobulamu tebakyayonoonera ssente mu ddwaaliro.
l Afuna ssente mu pulojekiti eno. Agamba nti, ng’omutandisi wa bizinensi eno, afuna ssente ez’okwebeezaawo wamu n’okwekulaakulanya ng’omukyala newankubadde ennyingiza ya ssente tennabeera nnungi nga bw’ayagala, musiimu nti, obulunzi buno bumuyimirizaawo.
l Yeenyumiriza okutandikawo bizinensi ya famire. Agamba nti, asobodde okuyigiriza abaana be obulunzi buno n’ebintu by’akola ne bw’aba taliiwo basobola okutambuza emirimu gye.
l Akwataganye n’ebitongole eby’enjawulo okuli: NSSF high innovator, Women accelerator programme okumuvujjirira ssente okwongera okukulaakulanya bizinensi ye, ne Vision Group emuyambye okumanyika mu bantu ng’eyita mu nteekateeka zaayo.
Aliko ky’abuuza ku by’obulimi n’obulunzi weereza ekibuuzo kyo ku nnamba ya ssimu 0782080841, Kijja kukuddibwaamu ku miko gino.
KANYESIGYE ASIIMYE ENTEEKATEEKA YA HARVEST MONEY EXPO
Kanyesigye atendereza omwoleso ogutegekebwa Vision Group ogwa Harvest Money Expo okubeera omulungi ennyo mu ggwanga lyonna kubanga abalimi n’abalunzi bayize ennima awamu n’ennunda ey’omulembe.
Agamba ye ng’omu yasobola okusomesa abantu ab’enjawulo mu mwoleso guno ku ngeri gy’alundiramu embuzi awafunda n’ebintu eby’enjawulo by’akola okuva mu mata gano, kino kimuyambye okugaziya akatale.
Agamba nti, nabo balina amagezi amaggya ge bafuna okuva mu mwoleso guno, okugeza okuyiga okukola ebigimusa eby’obutonde by’ateeka mu nnimiro ye mw’alimira ebintu eby’enjawulo.
ENDABIRIRA Y’EMBUZI ZINO
l Baziteeka mu biyumba ebiyonjo. Kanyesigye agamba nti, bazimba ebiyumba by’embuzi nga biri waggulu nga bweziba zifuse omusulo gukulukuta ne guyiika mu kinnya era ebiyumba bino babikuuma nga biyonjo buli kadde okwewala endwadde eziva ku bucaafu.
l Baziwa emmere ennyonjo, ey’omutindo era ne bagitereka bulungi. Zirya sayireegi gwe bakola mu bisagazi ng’atabuddwaamu ebisoolisooli n’emiddo emirala era babitereka nga birungi n’amazzi gaabyo.
Baziwa ebiwata mu bungi kubanga birimu amazzi mangi, ebisubi (basaawa ebisubi ne babyanika ne bikala).
Emmere y’embuzi okuli; ebikanja bagula eby’omutindo omulungi ate ne babitereka bulungi okwewala ensweera okubigwaako kubanga ziyinza okubiikako amagi agayinza okulwaza embuzi zino.
l Baziwa amazzi amayonjo mu bungi. Buli mbuzi bagiwa liita 20 ez’amazzi, gano gaziyambako okulabika obulungi.
l Baziriisa omunnyo gw’ebisolo ogwa ‘Dairy leak’ ogw’ebisolo nga guno mulungi mu kugumya amagumba g’embuzi.
OKUSOOMOOZA KW’ASANGA
Obutamanya mu bantu ku mata g’embuzi, ekikyalemesezza akatale okugaziwa
No Comment