Minisita Nabbosa Ssebuggwawo etongozza emirimu egikolebwa mu kifo ky'abataka e Mmengo

Mar 17, 2025

MINISITA omubeezi owa Tekinologiya Joyce Nabbosa Ssebugwawo asabye bannayuganda obuteetundako ttaka wabula okulikolerako eby'omugaso ng'okulima n'okulunda.

NewVision Reporter
@NewVision
MINISITA omubeezi owa Tekinologiya Joyce Nabbosa Ssebugwawo asabye bannayuganda obuteetundako ttaka wabula okulikolerako eby'omugaso ng'okulima n'okulunda.
 
Yasinzidde mu kifo ky'Abataka ba Buganda ekyabaweebwa Pulezidenti Museveni e Mengo Kabakanjagala ku mukolo gw'okutongoza ffaamu ey'omulembe abataka we banaasinziira okukolera pulojekiti zaabwe ez'enkulaakulana.
 
Nabbosa yasabye Abataka okutwala enteekateeka y'okusomesa abazzukulu baabwe ku nnima ey'omulembe era n'okigamanyisa eggwanga lyonna.
 
Yeebazizza Pulezidenti Museveni okudduukira abataka n'ettaka mwe banaggya obugagga n'asaba Abataka okukitwala ng'ekyomuwendo.
 
Abataka n'abazzukulu eno basomeseddwa abakugu okuva mu balimisa ba Hope Organic Ltd abaabasomesezza okulimira awafunda n'okulunda ate nga bafunamu amagoba.
 
Mu kifo kino abataka baateekako pulojekiti zaabwe okuli ennyanya, okulunda eby'ennyanja, enkoko n'ebirala bye basuubira okuvaamu ssente z'okweggya mu bwavu okuddamu omulanga kwe baafunira ettaka lino.
 
Omutaka w'e kika ky'e ffumbe Yusufu Mbirozankya yategeezezza nti baayise abasomesa ku nnima ey'omulembe okwongera okubayigiriza okulimira awafunda era n'akubiriza abazzukulu okutwala enteekateeka eno mu maaso.
 
Sserubiri Ssewava yasinzidde eno naye n'akuutira bannansi bulijjo okwenyumiriza mu ttaka era n'abawa amagezi obutalyetundako wabula okukolerako eby'obulimi ebisobola okubaggya mu ddubi ly'obwavu.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});