ABASAWO b'ebiwanga abeegattira mu kibiina ki Otolaryngology Society of Uganda (OSU) bagambye nti endwadde z'amatu, amaaso n'emimiro zeeyongedde wabula nga esinze okweyongera yey'amatu era bantu bangi naddala abavubuka boolekedde okufuuka bakiggala.
Okwogera babadde bakubye olusiisira okujjanjaba amatu n'okugakebera nga bajaguza olunaku lw'okuwulira olw'ensi yonna olwa World Hearing day.
RDC Mariam Nalubega Sseguya alabudde abantu beewale enkola ey'okwejjanjaba kubanga kyabulabe nnyo wabula batwale okuwale kw'abakasawo ku ndwadde z'ebiwanga n'amatu.
Josephine Ndikicoro anyonyodde ku byuma ebyareeteddwa okupima amatu n'okukebera abo abaagala okumanya embeera mwegali.
Abasawo basomesezza abantu ebikwata ku ndwadde z'amatu n'okuzirondoola mu baana abato okutandika n'abo abaakazaalibwa.
Abantu bajjanjabiddwa amatu n'abo abalina agazibikidde bonna bajjanjabiddwa n'abamu okuwebwa obuuma obwambalibwa ku matu okuditula amaloboozi.
Akulira eddwaliro lya Kayunga Regional Referral Dr. Robert Ssentongo asabye abantu okutwala amatu nga kitundu kyamugaso nnyo ku mubiri gw'omuntu.
Christopher Twereire alaze obwetaavu obw'okuteekawo abasawo ab'amatu ku malwaliro aga health center III kubanga abalwadde bangi nga likodi ziraga nti buli mwaka mu Uganda amalwaliro gafuna abalwadde b'amatu abasoba mu 12,000.
Dr. Judith Tuhaise agambye nti abavubuka bali mu katyabaga ak'okufiirwa amatu olw'emizindaalo egiwoggana gye bateeka ku matu gaabwe.